Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 24

Mujje ku Lusozi lwa Yakuwa

Mujje ku Lusozi lwa Yakuwa

(Isaaya 2:2-4)

  1. 1. Yimusa ’maaso go

    Olengere ’mitala.

    Laba ’lusozi lwa

    Yakuwa oluwanvu.

    ’Bantu balweyuna;

    Bava mu bifo byonna

    Nga bagamba: ‘Mujje

    muweereze Katonda.’

    ’Kiseera kituuse

    Batono babe ’ggwanga ddene.

    ’Mikisa egiva

    Eri Katonda tugirabye.

    Abantu bangi nnyo

    Bajja eri Katonda

    Era bamaliridde

    Okumuweereza.

  2. 2. Yesu yatugamba

    Tugende tubuulire.

    ’Njiri y’Obwakabaka

    Ebuulirwa wonna.

    Kristo ye Kabaka

    Era ’koowoola bonna;

    ’Ddoboozi lye

    ’Bawombeefu baliwulira.

    Kya ssanyu ’kulaba

    Ab’ekibiina ekinene.

    Ffenna twenyigidde

    Mu kuyamba ’bantu ’balala.

    Ka tunyiikirire

    ’Kukoowoola ’balala

    Bajje waggulu ku

    Lusozi lwa Yakuwa.