Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 26

Mwabikolera Nze

Mwabikolera Nze

(Matayo 25:34-40)

  1. 1. Bonna abayamba baganda ba Kristo

    abakyali ku nsi basiimibwa nnyo.

    Yesu wa kubawa

    empeera nnene nnyo

    ’Lw’okuwagira baganda be abo.

    (CHORUS)

    “Bye mwabakolera, mwakolera nze.

    Mwababudaabuda; mwabayambanga.

    Ebintu ebyo mwabikolera nze.

    Bwe mwabayamba, mwayambanga nze.

    Bye mwabakolera, mwakolera nze.”

  2. 2. “Bwe nnalumw’e njala mwampa eky’okulya;

    mwanfaako nnyo ddala; mwambudaabuda.”

    “Twakukolera ddi

    ’bintu ebyo byonna?”

    Bw’ati Kabaka bw’alibaanukula:

    (CHORUS)

    “Bye mwabakolera, mwakolera nze.

    Mwababudaabuda; mwabayambanga.

    Ebintu ebyo mwabikolera nze.

    Bwe mwabayamba, mwayambanga nze.

    Bye mwabakolera, mwakolera nze.”

  3. 3. “Mujje mmwe Kitange be yaw’o mukisa;

    mujje musikire Obwakabaka,”

    Yesu bw’aligamba

    abo abeesigwa

    Abawagidde ennyo baganda be.

    (CHORUS)

    “Bye mwabakolera, mwakolera nze.

    Mwababudaabuda; mwabayambanga.

    Ebintu ebyo mwabikolera nze.

    Bwe mwabayamba, mwayambanga nze.

    Bye mwabakolera, mwakolera nze.”