OLUYIMBA 28
Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa
-
1. Ani mukwano gwo
Gw’osembeza gy’oli?
Ani afuuka mukwano gwo?
Ani akumanyi?
Beebo abeesiga
Ggwe n’Ekigambo kyo.
Be bonna abamaliridde
Obutakuvaako.
-
2. Ani mukwano gwo
Akutuukirira?
Ani akusanyusa ennyo
Gw’omanyi n’erinnya?
Beebo abafuba
Okukugondera.
Be bonna ’boogera ’mazima,
Abeesimbu ddala.
-
3. Tukubikkulira
Emitima gyaffe.
Tubudaabudibwa; tunyweza
Omukwano gwaffe.
Tuyaayaanira nnyo
’Kuba mikwano gyo.
Ow’omukwano asinga ggwe
Tayinza kubaayo.
(Laba ne Zab. 139:1; 1 Peet. 5:6, 7.)