Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 33

Omugugu Gwo Gukwase Yakuwa

Omugugu Gwo Gukwase Yakuwa

(Zabbuli 55)

  1. 1. “Tega okutu,” Yakuwa.

    Wulira bye nkusaba.

    Lab’o bulumi bwe nnina

    Onnyambe nneme kutya.

    (CHORUS)

    Omugugu gwo gukwase

    Yakuwa, ajja kukuyamba.

    Tayinza kukwabulira;

    Ajja kukuwagira.

  2. 2. Singa nze nnali ng’ejjiba,

    Nnandibuuse ne ŋŋenda,

    Ne nviira abanjiganya

    Era ’batanjagala.

    (CHORUS)

    Omugugu gwo gukwase

    Yakuwa, ajja kukuyamba.

    Tayinza kukwabulira;

    Ajja kukuwagira.

  3. 3. Mbudaabudibwa Yakuwa,

    Ne nfuna emirembe.

    Yeetikk’e migugu gyaffe.

    Wa kwagala; wa kisa.

    (CHORUS)

    Omugugu gwo gukwase

    Yakuwa, ajja kukuyamba.

    Tayinza kukwabulira;

    Ajja kukuwagira.

(Laba ne Zab. 22:5; 31:1-24.)