Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 34

Okutambulira mu Bugolokofu

Okutambulira mu Bugolokofu

(Zabbuli 26)

  1. 1. Onnamule, Yakuwa Katonda;

    Obwesigwa bwange obwekenneenyenga.

    Onkebere era ongezese,

    Era olongoose omutima gwange.

    (CHORUS)

    Mmaliridde Okutambulira

    emirembe gyonna Mu bugolokofu.

  2. 2. Situula na bantu abalimba.

    Sikolagana na banyooma ’mazima.

    Tonsaanyaawo wamu n’aboonoonyi,

    Abo abaagala okulya enguzi.

    (CHORUS)

    Mmaliridde Okutambulira

    emirembe gyonna Mu bugolokofu.

  3. 3. Njagala nnyo ’kuba mu nnyumba yo.

    Nja kuwagiranga, nze okusinza kwo.

    Ekyoto kyo nja kukyetooloola,

    Okwebaza kwange kuwulirwe wonna.

    (CHORUS)

    Mmaliridde Okutambulira

    emirembe gyonna Mu bugolokofu.

(Laba ne Zab. 25:2.)