OLUYIMBA 35
“Mumanyenga Ebintu Ebisinga Obukulu”
-
1. Twetaaga nnyo amagezi leero
’Kumanya ebisaana,
’Kumany’e bisinga obukulu,
’Kumany’e by’okukola.
(CHORUS)
Yagala nnyo ebirungi.
Kyaw’e bibi;
’Mikisa mingi nnyo gye tufuna
Bwe tumanya
Ebikulu ne tubikola.
-
2. Mulimu ki omukulu ennyo
’Kusing’o kubuulira,
Okunoonya abo abagwanira
Bamany’a mazima?
(CHORUS)
Yagala nnyo ebirungi.
Kyaw’e bibi;
’Mikisa mingi nnyo gye tufuna
Bwe tumanya
Ebikulu ne tubikola.
-
3. ’Kukkiriza kwaffe kunywera
Bwe tumanya ebikulu.
Tuba n’emirembe egy’ensusso
N’essuubi erinywevu.
(CHORUS)
Yagala nnyo ebirungi.
Kyaw’e bibi;
’Mikisa mingi nnyo gye tufuna
Bwe tumanya
Ebikulu ne tubikola.
(Laba ne Zab. 97:10; Yok. 21:15-17; Baf. 4:7.)