OLUYIMBA 40
Mukama Wo y’Ani?
-
1. Mukama wo y’ani?
Ani ggwe gw’ogondera?
Oyo gw’ovunnamira y’aba
Mukama wo gw’oweereza.
Abaami babiri
Tebajja kugabana
Kwagala kw’omutima gwo era
Tojja kubasanyusa.
-
2. Katonda wo y’ani?
Ani kati gw’osinza?
Ow’amazima ali omu;
Londawo gw’onooweereza.
Kayisaali w’ensi
Ggwe gw’oneemalirako?
Oba Katonda ow’amazima
Ng’okola by’ayagala?
-
3. Nze nfugibwa ani?
Nze ŋŋondera Yakuwa,
Kitange oyo ’w’omu ggulu.
Nja kukola bye nneeyama.
Oyo ye yangula.
Nja kumunywererako.
’Bulamu bwange nnabumukwasa;
Ka mmutende bulijjo.
(Laba ne Yos. 24:15; Zab. 116:14, 18; 2 Tim. 2:19.)