Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 42

Okusaba kw’Omuweereza wa Katonda

Okusaba kw’Omuweereza wa Katonda

(Abeefeso 6:18)

  1. 1. Yakuwa ggwe Muyinza wa Byonna;

    Erinnya lyo litenderezebwenga.

    Otuukiriza by’oyagala.

    Obwakabaka bwo tubwesunga

    Era tusaba bujje

    ’Nsi eryoke ’tereere.

  2. 2. Tukwebaza Kitaffe Yakuwa;

    Ggw’otuwadde ffe byonna bye tulina.

    Ggwe nsibuko y’ekitangaala;

    Ggwe nsibuko y’okumanya kwonna.

    Ka tukutendereze

    Buli lukya Kitaffe.

  3. 3. Wadde nga mu nsi tubonaabona,

    Ggw’otuyamba ne tugumira byonna.

    Kitaffe ggw’otubudaabuda

    Ne tuba nga tugumiikiriza.

    Kitaffe tuyambenga

    Tukole by’oyagala.