Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 44

Essaala y’Omunaku

Essaala y’Omunaku

(Zabbuli 4:1)

  1. 1. Ai Yakuwa: “Wulira

    okusaba kwange.”

    Omugugu gwe nneetisse

    gunzitooweredde.

    Mpeddemu amaanyi

    olw’okweraliikirira.

    Nkwegayiridde Katonda

    wange; mbudaabuda.

    (CHORUS)

    Onnyambe nze, okuguma,

    ’Ssuubi lyange likakate.

    Nkukoowoola, ggwe Yakuwa.

    Zza obuggya ’maanyi gange.

  2. 2. Ekigambo kyo kimpa

    ’maanyi bwe mba nnafuye.

    Kirimu ebintu bingi

    nnyo ebinzimba nze.

    Onnyambe mbeere n’okukkiriza

    okw’amaanyi,

    Nzijukirenga bulijjo

    ’kwagala kwo ’kungi.

    (CHORUS)

    Onnyambe nze, okuguma,

    ’Ssuubi lyange likakate.

    Nkukoowoola, ggwe Yakuwa.

    Zza obuggya ’maanyi gange.