Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 52

Okwewaayo okw’Ekikristaayo

Okwewaayo okw’Ekikristaayo

(Abebbulaniya 10:7, 9)

  1. 1. Nnyini butonde bwonna ye

    Yakuwa Katonda.

    Ye yatond’e ggulu n’ensi;

    Buli kintu kyonna.

    Afaayo ku bantu bonna

    Era abalaga

    Nti y’agwanidd’o kusinzibwa

    N’okutenderezebwa.

  2. 2. Yesu bwe yabatizibwa

    Yagamba Katonda:

    ‘Nziz’o kkola by’oyagala.’

    Yalag’o bwesigwa.

    Bwe yava mu Yoludaani

    Yakiragirawo

    Nti ye yali muwulize nnyo

    Ng’oyo eyeewaddeyo.

  3. 3. Tuzze ’maaso go Yakuwa,

    Tutende ’linnya lyo.

    N’emitim’e miwombeefu

    Ffe twewaayo gy’oli.

    Wawaayo ’Mwana wo omu

    Gw’oyagala ennyo.

    Ffe tetukyetwala ku lwaffe,

    Kati tuli baddu bo.