OLUYIMBA 63
Tuli Bajulirwa ba Yakuwa!
-
1. Abantu beekolera
Bakatonda bangi nnyo.
Naye tebamanyi
Ow’amazima.
Bakatonda ’balala
Tebayinza kumanya
Eby’e binaabaawo gye bujja;
Kuba bo si ba mazima.
(CHORUS)
Ffe tuli Bajulirwa
Ba Yakuwa Katonda.
By’ayogera bituukirira,
Kuba ye wa mazima.
-
2. Tulangirira wonna
Erinnya lya Katonda;
N’Obwakabaka bwe,
Tubumanyisa.
’Bantu bwe tubayamba
Okuyiga ’mazima
’Bulamu bwabwe bulongooka;
Batendereza Yakuwa.
(CHORUS)
Ffe tuli Bajulirwa
Ba Yakuwa Katonda.
By’ayogera bituukirira,
Kuba ye wa mazima.
-
3. Tuwa obujulirwa
Ku linnya lya Katonda.
Tulabula ’babi
Abalivvoola.
Abantu bwe beenenya
Katonda asonyiwa;
Bafun’e mirembe n’essanyu
N’obulamw’o bw’amakulu.
(CHORUS)
Ffe tuli Bajulirwa
Ba Yakuwa Katonda.
By’ayogera bituukirira,
Kuba ye wa mazima.
(Laba ne Is. 37:19; 55:11; Ezk. 3:19.)