Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 64

Okwenyigira mu Makungula n’Essanyu

Okwenyigira mu Makungula n’Essanyu

(Matayo 13:1-23)

  1. 1. Kati tuli mu makungula;

    Eno nkizo ya maanyi nnyo.

    ’By’okukungula bingi ddala;

    Ka tube banyiikivu nnyo.

    Ekyokulabirako Yesu

    Kye yateekawo kirungi.

    Ddala nkizo ’kukuŋŋaanya naye

    Ebibala ebirungi.

  2. 2. ’Kwagala kutukubiriza

    Okwongeramu amaanyi.

    ’Mulimu guno mukulu nnyo;

    ’Nkomerero eri kumpi.

    Essanyu lye tufuna lingi

    Mu mulimu gwa Katonda.

    Tweyongere ’kugunyiikirira;

    Anaatuwa emikisa.