Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 71

Tuli Ggye lya Yakuwa!

Tuli Ggye lya Yakuwa!

(Abeefeso 6:11-14)

  1. 1. Tuli ggye lya Yakuwa;

    Tuli bagumu.

    Wadde tuziyizibwa,

    Tusigala bumu.

    Tweyongera mu maaso

    N’obunyiikivu;

    Ffe tumaliridde;

    Tetutya bantu.

    (CHORUS)

    Tuli ggye lya Yakuwa;

    Ffenna awamu

    Tulangirira nti:

    “Katonda ’fuga.”

  2. 2. Tuweereza Yakuwa;

    Tunoony’e ndiga,

    Ezibuzaabuziddwa

    Era ezikaaba.

    Tufub’o kuziriisa;

    Tuziddiŋŋana.

    Tuziyita zijje

    Gye tukuŋŋaana.

    (CHORUS)

    Tuli ggye lya Yakuwa;

    Ffenna awamu

    Tulangirira nti:

    “Katonda ’fuga.”

  3. 3. Tuli ggye lya Yakuwa;

    Eggye ’ttegeke.

    ’Byokulwanyisa byonna

    Bituweereddwa ffe.

    Naye twegendereze

    Tube beesigwa.

    Tunywereze ddala

    Ffenna ’mazima.

    (CHORUS)

    Tuli ggye lya Yakuwa;

    Ffenna awamu

    Tulangirira nti:

    “Katonda ’fuga.”

(Laba ne Baf. 1:7; Fir. 2.)