Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 72

Okubunyisa Amazima g’Obwakabaka

Okubunyisa Amazima g’Obwakabaka

(Ebikolwa 20:20, 21)

  1. 1. Ffenna twali tetumanyi

    Kkubo ttuufu lya kukwata.

    Twalaba omusana,

    Oguva eri Yakuwa.

    Twategeera by’ayagala:

    ’Kugondera ’Bufuzi bwe,

    ’Kutenda erinnya lye,

    N’okuliweesanga ekitiibwa.

    Tubuulira ’bantu bonna,

    Mu mayumba ne ku nguudo.

    Tubalaga amazima,

    Ne gabafuula ba ddembe.

    Ka tufub’o kubuulira

    N’okubunyisa ’mazima,

    ’Kutuusa lw’anaagamba

    Nty’omulimu tugumalirizza.