Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 74

Yimba Oluyimba lw’Obwakabaka!

Yimba Oluyimba lw’Obwakabaka!

(Zabbuli 98:1)

  1. 1. Oluyimba luno lwa buwanguzi;

    Lumutenda Oyo ’w’oku ntikko.

    Ebigambo byalwo bigumya bonna.

    Yimba naffe, kuba lunyuvu nnyo:

    (CHORUS)

    ‘Ka tusinze ’Yatutonda.

    Omwana we Ye Kabaka!

    Oluyimba luno lwa Bwakabaka;

    Tenderez’e linnya lya Katonda.’

  2. 2. Nga tuyimba, tulang’o Bwakabaka.

    Yesu Kristo ’nsi anaagifuga.

    Era kati waliwo ’ggwanga eppya

    Nga be basika bw’Obwakabaka:

    (CHORUS)

    ‘Ka tusinze ’Yatutonda.

    Omwana we Ye Kabaka!

    Oluyimba luno lwa Bwakabaka;

    Tenderez’e linnya lya Katonda.’

  3. 3. Oluyimba luno lwangu ’kuyiga;

    Ebigambo byalwo bicamula.

    Mu nsi yonna, bangi nnyo baluyize,

    Era nabo bayita ’balala:

    (CHORUS)

    ‘Ka tusinze ’Yatutonda.

    Omwana we Ye Kabaka!

    Oluyimba luno lwa Bwakabaka;

    Tenderez’e linnya lya Katonda.’