Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 78

“Okuyigiriza Ekigambo kya Katonda”

“Okuyigiriza Ekigambo kya Katonda”

(Ebikolwa 18:11)

  1. 1. Okuyigiriza ’bantu

    Kituwa essanyu.

    Kivaamu n’emiganyulo

    Emirala ntoko.

    Tukopp’o Muyigiriza

    Omukulu Yesu.

    Be tuyamba basemberera

    Yakuwa Katonda.

  2. 2. Ebyo bye tuyigiriza,

    Ka tubikolenga.

    Awo tujja kuweesanga

    Katonda ’kitiibwa.

    Ekigambo kya Katonda

    Ka tukisomenga,

    Tusobol’o kuyigiriza

    ’Bulungi abantu.

  3. 3. Eby’okukozesa byonna

    Yakuwa ’bituwa.

    Bwe tumusaba ’tuyambe

    Ajja ’ttwanukula.

    Twagala nnyo ’Kigambo kye

    Era tukyesiga.

    Be tuyigiriza bafuuka

    Abayigiriza!