OLUYIMBA 80
“Mulegeeko Mulabe nti Yakuwa Mulungi”
-
1. Twagala nnyo ’buweereza;
Bwa muwendo nnyo gye tuli.
Ebiseera byaffe tubiwaayo
Tutuuke ku bantu bangi.
(CHORUS)
‘Ka tulegeko tukirabe
Nti Yakuwa mulungi.’
Bwe twemalira ku Katonda
Tuganyulwa nnyo nnyini.
-
2. Mu buweereza mulimu
Emikisa mingi ddala.
Bwe tumwesiga Katonda waffe
Tuba bamativu ddala.
(CHORUS)
‘Ka tulegeko tukirabe
Nti Yakuwa mulungi.’
Bwe twemalira ku Katonda
Tuganyulwa nnyo nnyini.
(Laba ne Mak. 14:8; Luk. 21:2; 1 Tim. 1:12; 6:6.)