OLUYIMBA 87
Jjangu Ozzibwemu Amaanyi
-
1. Twetooloddwa abantu abajeemu;
Yakuwa tebamumanyi.
Okwekuumira mu kkubo ettuufu,
Twetaaga ’bulagirizi.
Enkuŋŋaana zaffe zituganyula;
Zinyweza okukkiriza;
Zitukubiriza ’kkola ’birungi;
Zituzzaamu nnyo amaanyi.
Tunyweredde ku Yakuwa ky’agamba;
By’ayagala tubyagala.
Tuyiga bingi mu nkuŋŋaana zaffe
Ebituzzaamu amaanyi.
-
2. Yakuwa amanyi ffe bye twetaaga;
Tuwulire ky’atugamba.
Tulaga nti twagal’e Kigambo kye
Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana.
Tuyigirizibwa bulungi ddala
Ne tumany’e ky’okukola.
Bwe tuba awamu n’ab’oluganda,
Tuba basanyufu ddala.
Nga bwe tulindirira ensi empya,
Ka tukuŋŋaanenga nabo.
Tuyige ’ngeri y’okutambuzaamu
’Bulamu bwaffe bulijjo.
(Laba ne Zab. 37:18; 140:1; Nge. 18:1; Bef. 5:16; Yak. 3:17.)