Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 92

Ekifo Ekiyitibwa Erinnya Lyo

Ekifo Ekiyitibwa Erinnya Lyo

(1 Ebyomumirembe 29:16)

  1. 1. Nga nkizo ya maanyi Yakuwa,

    ’Kkuzimbira ’kifo kino!

    Tukiwaayo gy’oli kaakano

    Omanyikire ddala nnyo.

    Buli kintu ffe kye tukuwa,

    Mazima ggwe wakituwa.

    ’Maanyi gaffe n’eby’omuwendo,

    Tusanyuk’o kubikuwa.

    (CHORUS)

    Tukukwas’e kifo kino

    ’Linnya lyo limanyibwe.

    Tukiwaayo gy’oli leero;

    Kitaffe kikkirize.

  2. 2. Ka tukutendenga Kitaffe

    Nga tuzze mu kifo kino.

    Ka beeyongerenga obungi

    Abayiga ’makubo go.

    ’Kifo kya kukusinzizaamu;

    Tujja kukirabirira

    Nakyo kiwe obujulirwa,

    Nga naffe bwe tubuulira.

    (CHORUS)

    Tukukwas’e kifo kino

    ’Linnya lyo limanyibwe.

    Tukiwaayo gy’oli leero;

    Kitaffe kikkirize.