Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 93

Wa Omukisa Enkuŋŋaana Zaffe

Wa Omukisa Enkuŋŋaana Zaffe

(Abebbulaniya 10:24, 25)

  1. 1. Tukwebaza nnyo Yakuwa,

    Olw’enkuŋŋaana zaffe.

    Otuwenga omukisa

    Nga tuzze mu nkuŋŋaana.

  2. 2. Nga tukuŋŋaanye Yakuwa,

    Tuliise ’Kigambo kyo.

    Tuyigiriz’o kwogera

    Awamu n’okwagala.

  3. 3. Kitaffe tuwe ’mikisa,

    Emirembe, n’obumu,

    Buli kimu kye tukola

    Kikuweese ’kitiibwa.