Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 98

Ebyawandiikibwa​—Byaluŋŋamizibwa Katonda

Ebyawandiikibwa​—Byaluŋŋamizibwa Katonda

(2 Timoseewo 3:16, 17)

  1. 1. Ekigambo kya Katonda

    Kituw’e kitangaala.

    Bwe tuba tukigondedde

    Kitufuula ab’eddembe.

  2. 2. Katonda ye yakituwa,

    Tumanye by’atwetaaza.

    Kiteerez’e bintu byonna

    Era kitukangavvula.

  3. 3. ’Byawandiikibwa biraga

    Nti Katonda ’twagala.

    Bwe tufub’o kubisoma

    Tuba tetujja kuwaba.