Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 100

Basembeze

Basembeze

(Ebikolwa 17:7)

  1. 1. Yakuwa afaayo ku bantu bonna.

    Teri muntu yenna ye gw’asosola.

    Teri n’omu gw’amma

    musana na nkuba;

    Atuwa emmere n’essanyu.

    Buli lwe tulaga bannaffe ’kisa,

    Katonda waffe gwe tuba tukoppa.

    Kitaffe Yakuwa

    ajja kusasula

    ’Birungi ebyo bye tukola.

  2. 2. Kirungi nnyo ddala okuyambanga

    ’Bali mu bwetaavu ffe be tusanga.

    Ne bwe kibeera nti

    ffe tetubamanyi,

    Tekitugaana kubayamba.

    Tubasembeze nga Lidiya ’w’edda

    Eyayita ’waka ab’oluganda.

    Kitaffe alaba

    bonna abakoppa

    Ebikolwa bye eby’ekisa.