Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 102

“Yambanga Abanafu”

“Yambanga Abanafu”

(Ebikolwa 20:35)

  1. 1. ’Bunafu bwe tulina

    Ddala bungi nnyo.

    Naye ffenna Yakuwa

    Atwagala nnyo.

    Katonda wa kisa;

    Alin’o kwagala.

    Naffe ka twolekenga

    Nnyo okwagala.

  2. 2. Ababa banafuye

    Mu kukkiriza

    Tufub’o kubayamba;

    Bajja kunywera.

    Katonda ’baagala;

    ’Maanyi agabawa.

    Tubalumirirwenga;

    Tubayambenga.

  3. 3. Tuleme kubanenya;

    Tufengayo ku

    Ngeri y’okubayamba;

    ’Maanyi gaddemu.

    Tunyiikirirenga

    ’Kubabudaabuda;

    Bwe tunaabawagira,

    Bajja kuguma.