Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 107

Ekyokulabirako kya Katonda eky’Okwagala

Ekyokulabirako kya Katonda eky’Okwagala

(1 Yokaana 4:19)

  1. 1. Okwagala kwa Kitaffe Yakuwa,

    Kwa maanyi nnyo ddala.

    Kweyolekera mu byonna by’akola,

    Era kino tukiraba.

    Yeefiiriza nnyo n’awaayo ’Mwana we

    Gw’ayagal’e nnyo, okufa ku lwaffe.

    ’Kwagala okwo kwe kusingiridde.

    ’Kwagala kwe kwa nnamaddala.

  2. 2. Bwe tumukoppa okwagala kwaffe

    Kubeera kwa maanyi;

    Kutuleetera okufaayo ennyo

    Ku baganda baffe bonna.

    Tetusobola kwagala Katonda

    Bwe tutaagala ba luganda bonna.

    Abatunyiiza tubasonyiwenga.

    Kwe kwagala kw’ab’oluganda.

  3. 3. Okwagala kwe kutusobozesa

    Okuba obumu.

    Katonda waffe atukubiriza

    Okukuuma ’bumu bwaffe.

    Twagalanenga; tuyambaganenga.

    Ekigambo kye kituwabulenga.

    Ffenna awamu tutambulirenga

    Mu kkub’e ryo ery’okwagala.