Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 108

Okwagala kwa Katonda Okutajjulukuka

Okwagala kwa Katonda Okutajjulukuka

(Isaaya 55:1-3)

  1. 1. Katonda kwagala.

    Tuli bakakafu ddala.

    Yawaayo ’Mwana we Yesu

    N’afiirira buli muntu.

    Kati tulin’e ssuubi lya

    Bulamu bwa lubeerera.

    (CHORUS)

    ’Bayonta mujje munywe

    Amazzi ’g’obulamu.

    ’Kwagala kwa Katonda

    Tekujjulukuka.

  2. 2. Katonda kwagala.

    Ye by’akola bikiraga.

    Olw’okwagala kw’alina

    Yafuula Yesu kabaka.

    Obwakabaka bwe obwo

    Bwa kujja; buli kumpi nnyo!

    (CHORUS)

    ’Bayonta mujje munywe

    Amazzi ’g’obulamu.

    ’Kwagala kwa Katonda

    Tekujjulukuka.

  3. 3. Katonda kwagala.

    Tufub’o kumufaanana.

    Ka tuyambenga ’balala

    Okumanya by’ayagala.

    Ka tubuulirenga bonna

    Awatali kusosola.

    (CHORUS)

    ’Bayonta mujje munywe

    Amazzi ’g’obulamu.

    ’Kwagala kwa Katonda

    Tekujjulukuka.