Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 109

Yoleka Okwagala Okuviira Ddala ku Mutima

Yoleka Okwagala Okuviira Ddala ku Mutima

(1 Peetero 1:22)

  1. 1. Bwe twoleka okwagala,

    Tusanyusa nnyo Yakuwa.

    Okwagala kwe kungi nnyo.

    Kutusikiriza.

    Okwagala kusibuka

    Munda ddala mu mutima.

    Bwe tubeera n’okwagala,

    Tujja kukwoleka.

    Tujja kufaayo ddala

    Kw’abo abali mu bwetaavu.

    Twoleka omukwano;

    Tulumirirwa bonna.

    Bw’atyo Yesu bwe yakola;

    Yayoleka okwagala;

    ’Kwagala ’kwa nnamaddala.

    Naffe tukole tutyo,

    Twolekeng’o kwagala.