Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 111

Ebituleetera Essanyu

Ebituleetera Essanyu

(Matayo 5:12)

  1. 1. Bingi nnyo ebitusanyusa;

    ’Ssanyu lyaffe lyeyongera.

    Eby’omuwendo by’amawanga

    Byonger’o kkuŋŋaanyizibwa.

    Essanyu lyaffe lisibuka

    Mu Kigambo kya Katonda.

    Tukisoma buli lunaku;

    Tunyweza okukkiriza.

    Essanyu lye tulina liri

    Ng’omuliro mu mutima.

    Wadde tuba n’emitawaana

    Yakuwa ’tubudaabuda.

    (CHORUS)

    Yakuwa lye ssanyu lyaffe;

    By’akola bitusanyusa.

    Emirimu gye gya kitalo nnyo;

    Mulungi era wa maanyi!

  2. 2. Bye yakola bitusanyusa;

    Eggulu, ensi, n’ennyanja.

    Twewuunya bwe tutunuulira

    Buli kimu kye yakola.

    Tubulangirira n’essanyu

    ’Bwakabaka bwa Katonda.

    Tubwogerako buli wamu

    N’emikisa gye buleeta.

    Essanyu eritaliggwaawo

    Liri kumpi okutuuka.

    Ensi empya n’eggulu eppya

    Bireeta essanyu eryo.

    (CHORUS)

    Yakuwa lye ssanyu lyaffe;

    By’akola bitusanyusa.

    Emirimu gye gya kitalo nnyo;

    Mulungi era wa maanyi!