Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 115

Okusiima Obugumiikiriza bwa Katonda

Okusiima Obugumiikiriza bwa Katonda

(2 Peetero 3:15)

  1. 1. Yakuwa oli wa maanyi nnyo,

    N’okwagala kwo kungi nnyo.

    ’Bintw’e bibi bingi ku nsi

    Era tuli mu bulumi.

    Toludde nga bwe balowooza;

    Onootera okubikomya.

    (CHORUS)

    Twesung’e bijja mu maaso;

    Tutendereza erinnya lyo.

  2. 2. Gy’oli emyaka olukumi,

    Lwe lunaku lumu luti.

    ’Lunaku lwo olukulu,

    Luli kumpi; lujja mangu.

    Wadde ng’ababi obeesamba

    Osanyuka nnyo bwe beenenya.

    (CHORUS)

    Twesung’e bijja mu maaso;

    Tutendereza erinnya lyo.