Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 120

Koppa Obuwombeefu bwa Kristo

Koppa Obuwombeefu bwa Kristo

(Matayo 11:28-30)

  1. 1. Wadde Kristo wa kitiibwa nnyo ddala,

    Tabeerangako na malala gonna.

    Yaweebwa omulimu omukulu

    Naye yasigala nga muwombeefu.

  2. 2. Abazitoowereddwa abayita,

    Mujje mwetikke ekikoligo kye

    Mulyoke mufune ekiwummulo.

    Kristo muteefu era wa kisa nnyo.

  3. 3. Yagamba: ‘Muli ba luganda mmwenna.’

    Tonoonyanga bukulu; ggwe weereza.

    Abawombeefu Katonda b’asiima;

    Ensi eno bajja kugisikira.