Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 121

Tulina Okwefuga

Tulina Okwefuga

(Abaruumi 7:14-25)

  1. 1. Wadde tetutuukiridde ffenna,

    Tulina okuyiga okwefuga.

    Eby’omubiri tubyesambe,

    Eby’omwoyo tubyettanire.

  2. 2. Bulijjo Sitaani atukema,

    N’ekibi kiyinza okutuwabya.

    Kyokka ’mazima ga maanyi nnyo;

    Tusobola okuwangula.

  3. 3. Ttukuvu erinnya lya Katonda,

    N’olwekyo tuleme kulivumisa.

    Tufubenga nnyo okwefuga;

    Tuliweesenga ekitiibwa.