Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 125

“Balina Essanyu Abo Abasaasira Abalala!”

“Balina Essanyu Abo Abasaasira Abalala!”

(Matayo 5:7)

  1. 1. Katonda waffe wa kisa;

    ’Kisa kye kingi nnyo ddala.

    Abakola eby’ekisa

    Abafaako; abaagala.

    Aboonoonyi bwe beenenya

    ’Ssaala zaabwe ziwulirwa.

    Asaasira abanafu;

    Amanyi nti tuli nfuufu.

  2. 2. Bwe tumenya ’mateeka ge,

    Tusaba atusonyiwe.

    Naye nga tetunnasaba,

    Tulina okujjukira

    Nti tulina okuba nga

    Twasonyiye abalala.

    Bwe tuba tukoze tutyo,

    Emirembe tuba nagyo.

  3. 3. Bwe tubaako bye tugaba,

    ’Kisa kye tuba tulaga.

    Tetwefuuyira kkondeere

    Lw’ebyo bye tuba tugabye.

    Byonna Yakuwa ’biraba;

    Y’ajja okutusasula.

    Ba ssanyu nnyo ab’ekisa;

    Basiimibwa nnyo Katonda.

(Laba ne Mat. 6:2-4, 12-14.)