OLUYIMBA 132
Tufuuse Muntu Omu
-
1. Ono ggumba lyange era
Nnyama yange; sikyali nzekka.
Katonda ’mpadde munnange,
Gwe nnaabanga naye.
Ffe tufuuse muntu omu;
Yakuwa ky’ayagala tube.
Ng’omusajja n’omukazi,
Kati tuli maka.
Bulijjo tujja kuweereza
Katonda waffe
Era twagalane nnyo.
Ka kibeerere ddala nga
Bwe tweyamye eri Yakuwa.
Tumuweese ekitiibwa,
Era twagalanenga nnyo.
(Laba ne Lub. 29:18; Mub. 4:9, 10; 1 Kol. 13:8.)