Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 133

Weereza Yakuwa Ng’Okyali Muvubuka

Weereza Yakuwa Ng’Okyali Muvubuka

(Omubuulizi 12:1)

  1. 1. Abato Katonda ’twagala nnyo.

    Ebirungi by’atuwa bya nsusso!

    Tumaliridd’o kumuweereza

    N’obwesigwa emirembe gyonna.

  2. 2. ’Bazadde baffe batuwabula;

    Tubawa ekitiibwa; tubeewa.

    Ekyo kisanyusa nnyo Yakuwa.

    Twongera okumusemberera.

  3. 3. Abato tujjukire Katonda,

    Era twagale nnyo amazima.

    Bwe tuneemalira ku Yakuwa

    Kijja kumusanyusa nnyo ddala.