Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 138

Abalina Envi ba Kitiibwa

Abalina Envi ba Kitiibwa

(Engero 16:31)

  1. 1. Abakaddiye bangi

    Mu b’oluganda.

    Tuweerereza wamu;

    Banywevu ddala.

    Abamu bafiiriddwa

    ’Baagalwa baabwe.

    Yonger’o kubagumya,

    Ai Kitaffe.

    (CHORUS)

    Kitaffe omanyi

    ’Bwesigwa bwabwe.

    Bazzeemu amaanyi;

    K’obasiime ggwe!

  2. 2. Bw’oba mu kkubo ’ttuufu

    Envi kitiibwa.

    ’Beesigwa ba muwendo

    Eri Yakuwa.

    Tukijjukirenga nti

    Baaliko ’bato.

    Mu buweereza bwabwe

    Baafubanga nnyo.

    (CHORUS)

    Kitaffe omanyi

    ’Bwesigwa bwabwe.

    Bazzeemu amaanyi;

    K’obasiime ggwe!