Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 141

Obulamu Kyamagero

Obulamu Kyamagero

(Zabbuli 36:9)

  1. 1. ’Musana gwaka, ’Nkuba etonnya,

    Omwana azaalibwa, ’Mmere ’mera—

    Byonna biva wa Katonda waffe.

    Byamagero by’akola tubeerewo ffe.

    (CHORUS)

    ’Bulamu kirabo kya muwendo nnyo;

    Oyo eyabutuwa tumwagalenga nnyo,

    Bwe kityo tulage nti ffe tusiima nnyo

    Ekirabo kino kye yatuw’o buwa.

  2. 2. Wadde ng’eriyo Abatasiima

    Katonda eyatuwa Obulamu.

    Tetuli ng’abo. Ffe tumutenda.

    Tumwebaza ’lw’obulamu bwe tulina.

    (CHORUS)

    ’Bulamu kirabo kya muwendo nnyo.

    Bantu bannaffe bonna tubaagalenga nnyo.

    Bwe kityo tulage nti ffe tusiima nnyo

    Ekirabo kino kye yatuw’o buwa.