Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 149

Oluyimba olw’Obuwanguzi

Oluyimba olw’Obuwanguzi

(Okuva 15:1)

  1. 1. Tenda Yakuwa. Erinnya lye lya kitiibwa nnyo.

    Eggye ly’Abamisiri alisaanyizzaawo.

    Mutendereze

    Omuyinza w’Ebintu Byonna.

    ’Linnya lye Yakuwa;

    Y’awangudd’o lutalo.

    (CHORUS)

    Yakuwa, teri alinga ggwe;

    Ggwe tokyuka emirembe gyonna.

    Erinnya lyo oliritukuza

    Ng’oggyawo ’balabe bonna.

  2. 2. Laba ’mawanga Gonna ’gawakanya Yakuwa.

    Nago ga kuswazibwa,

    Wadde ga maanyi nnyo.

    Ga kusaanawo

    Gonna gonna kw’Amagedoni.

    ’Linnya lya Katonda

    Lirimanyibwa bonna.

    (CHORUS)

    Yakuwa, teri alinga ggwe;

    Ggwe tokyuka emirembe gyonna.

    Erinnya lyo oliritukuza

    Ng’oggyawo ’balabe bonna.