Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 7

Amawanga Gajja “Kumanya Nti Nze Yakuwa”

Amawanga Gajja “Kumanya Nti Nze Yakuwa”

Ezeekyeri 25:17

OMULAMWA: Bye tuyigira ku ngeri Isirayiri gye yakolaganamu n’amawanga agaali gavvoola erinnya lya Yakuwa

1, 2. (a) Mu ngeri ki eggwanga lya Isirayiri gye lyali ng’endiga eyeetooloddwa emisege? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Kiki Abayisirayiri ne bakabaka baabwe kye bakkiriza?

 OKUMALA emyaka mingi eggwanga lya Isirayiri lyali ng’endiga eyeetooloddwa emisege. Baalina abalabe ku njuyi zonna. Ku ludda olw’ebuvanjuba waaliyo Abaamoni, Abamowaabu, n’Abeedomu. Ku ludda olw’ebugwanjuba waaliyo Abafirisuuti abaayigganya Abayisirayiri okumala ebbanga ggwanvu. Ebukiikakkono waaliyo ekibuga Ttuulo, ekyali ekigagga era ekyali ekitutumufu ennyo mu by’obusuubuzi. Ku ludda olw’ebukiikaddyo waaliyo eggwanga lya Misiri, eryafugibwanga Falaawo, eb’eggwanga eryo gwe baatwalanga okuba katonda.

2 Abayisirayiri bwe beesiganga Yakuwa, yabakuumanga abalabe baabwe ne batabatuusaako kabi. Kyokka enfunda n’enfunda abantu ba Yakuwa ne bakabaka baabwe bakkiriza okutwalirizibwa empisa z’amawanga agaali gabeetoolodde. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Kabaka Akabu eyakkiriza abalala okumuleetera obutaba mwesigwa eri Yakuwa. Kabaka Akabu yali afuga obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi era yaliwo mu kiseera kye kimu ne Kabaka Yekosafaati eyali afuga obwakabaka bwa Yuda. Akabu yawasa muwala wa kabaka wa Sidoni eyalina obuyinza ku kibuga Ttuulo ekyali ekigagga. Omukazi oyo eyali ayitibwa Yezebeeri, yatumbula okusinza Bbaali mu Isirayiri era n’aleetera omwami we okwonoona okusinza okulongoofu ku kigero ekya waggulu ennyo.​—1 Bassek. 16:30-33; 18:4, 19.

3, 4. (a) Bunnabbi ki Ezeekyeri bwe yatandika okulangirira? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?

3 Yakuwa yali yalabula abantu be ku bizibu ebyandivudde mu butaba beesigwa gy’ali. Kati yali takyayinza kubagumiikiriza. (Yer. 21:7, 10; Ezk. 5:7-9) Mu 609 E.E.T., eggye lya Babulooni lyakomawo mu Nsi Ensuubize omulundi ogw’okusatu. Waali wayise emyaka nga kkumi bukya ggye eryo lisembayo okulumba ensi eyo. Ku luno Abababulooni baali bagenda kumenyamenya bbugwe wa Yerusaalemi era bafufuggaze n’abo bonna abaajeemera Nebukadduneeza. Eggye eryo bwe lyazingiza Yerusaalemi era obunnabbi bwa Ezeekyeri ne butuukirira mu bujjuvu, Ezeekyeri yatandika okulangirira obunnabbi obwali bukwata ku ekyo ekyandituuse ku mawanga agaali geetoolodde Ensi Ensuubize.

Amawanga agavvoola erinnya lya Yakuwa gaabonerezebwa

4 Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti abalabe ba Yuda bandisanyuse ng’ekibuga Yerusaalemi kizikiriziddwa era nti bandiyisizza bubi abo abandiwonyeewo. Naye amawanga ago agavvoola erinnya lya Yakuwa era agayigganya oba agaayonoona abantu ba Yakuwa gaali gajja kubonerezebwa. Biki bye tuyigira ku ngeri Isirayiri gye yakolaganamu n’amawanga ago? Era obunnabbi bwa Ezeekyeri obukwata ku mawanga ago butuwa butya essuubi leero?

Ab’eŋŋanda za Isirayiri ‘Abaabakudaalira’

5, 6. Kakwate ki akaaliwo wakati w’Abaamoni n’Abayisirayiri?

5 Abaamoni, Abamowaabu, n’Abeedomu baalina oluganda ku Bayisirayiri. Wadde kyali kityo, amawanga ago gaayigganya nnyo abantu ba Katonda era ‘gaabakudaaliranga.’​—Ezk. 25:6.

6 Lowooza ku Baamoni. Baava mu Lutti, omwana wa muganda wa Ibulayimu, okuyitira mu muwala wa Lutti omuto. (Lub. 19:38) Olulimi lwabwe lwali terwawukana nnyo ku Lwebbulaniya, era abantu ba Katonda bayinza okuba nga baali balutegeera. Olw’okuba Abayisirayiri baalina oluganda ku Baamoni, Yakuwa yabalagira obutalwanyisa Baamoni. (Ma. 2:19) Naye mu kiseera ky’Abalamuzi, Abaamoni beegatta ku Eguloni, kabaka wa Mowaabu, ne bayigganya Abayisirayiri. (Balam. 3:12-15, 27-30) Oluvannyuma lw’ekiseera, Sawulo bwe yali nga ye kabaka wa Isirayiri, Abaamoni baalumba Isirayiri. (1 Sam. 11:1-4) Ate mu kiseera kya Kabaka Yekosafaati, Abaamoni baddamu ne beegatta ku Bamowaabu okulumba Ensi Ensuubize.​—2 Byom. 20:1, 2.

7. Abamowaabu baayisa batya Abayisirayiri, wadde nga baabalinako oluganda?

7 Abamowaabu nabo baava mu Lutti, okuyitira mu muwala we omukulu. (Lub. 19:36, 37) Yakuwa yalagira Abayisirayiri obutalwanyisa Mowaabu. (Ma. 2:9) Naye bo Abamowaabu tebaayisa bulungi Bayisirayiri. Mu kifo ky’okuyamba Abayisirayiri abaali bava mu buddu e Misiri, baagezaako okubalemesa okutuuka mu Nsi Ensuubize. Kabaka wa Mowaabu ayitibwa Balaki yagulirira Balamu okukolimira Abayisirayiri, era Balamu yabuulira Balaki engeri y’okusendasendamu Abayisirayiri okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’okusinza ebifaananyi. (Kubal. 22:1-8; 25:1-9; Kub. 2:14) Okumala emyaka mingi Abamowaabu baayigganya Abayisirayiri wadde nga baabalinako oluganda, era baabayigganya okutuukira ddala mu kiseera kya Ezeekyeri.​—2 Bassek. 24:1, 2.

8. Lwaki Yakuwa yagamba nti Abeedomu baali baganda b’Abayisirayiri, naye Abeedomu baayisa batya Abayisirayiri?

8 Abeedomu baava mu Esawu, ate nga Esawu ne Yakobo baali balongo. Oluganda Abeedomu lwe baalina ku Isirayiri lwali lwa ku lusegere nnyo ne kiba nti Yakuwa Abeedomu yabayita baganda b’Abayisirayiri. (Ma. 2:1-5; 23:7, 8) Wadde kyali kityo, Abeedomu baayigganya Abayisirayiri okuviira ddala mu kiseera nga bavudde e Misiri nga bagenda mu Nsi Ensuubize okutuukira ddala Yerusaalemi lwe kyazikirizibwa mu 607 E.E.T. (Kubal. 20:14, 18; Ezk. 25:12) Mu kiseera ekyo Abeedomu baasanyuka okulaba omutawaana ogwali gutuuse ku Bayisirayiri, ne bakubiriza Abababulooni okuzikiriza Yerusaalemi. Ate Abayisirayiri abaabanga bagezaako okudduka, baabakwatanga ne babawaayo mu mikono gy’abalabe baabwe.​—Zab. 137:7; Ob. 11, 14.

9, 10. (a) Kiki ekyatuuka ku Amoni, Mowaabu, ne Edomu? (b) Byakulabirako ki ebiraga nti si buli omu ku bantu b’omu mawanga ago nti yali tayagala Bayisirayiri?

9 Yakuwa yavunaana amawanga ago gonna agaalina oluganda ku Isirayiri, olw’engeri gye gaayisaamu abantu be. Yagamba nti: ‘Nja kuwaayo Abaamoni eri abantu b’Ebuvanjuba babe baabwe, Abaamoni baleme kuddamu kujjukirwa mu mawanga.’ Ate era yagamba nti: “Nja kubonereza Mowaabu, era bajja kumanya nti nze Yakuwa.” (Ezk. 25:10, 11) Nga wayise emyaka ng’etaano oluvannyuma lwa Yerusaalemi okuzikirizibwa, obunnabbi obwo bwatandika okutuukirizibwa, Abababulooni bwe baawamba Amoni ne Mowaabu. Yakuwa yagamba nti Edomu yali agenda ‘kugimalamu abantu baamu n’ensolo, era agifuule matongo.’ (Ezk. 25:13) Nga Yakuwa bwe yagamba, ekiseera kyatuuka Amoni, Mowaabu, ne Edomu, ne bisaanirawo ddala.​—Yer. 9:25, 26; 48:42; 49:17, 18.

10 Kyokka tekiri nti buli muntu mu mawanga ago yali tayagala bantu ba Katonda. Ng’ekyokulabirako, Zereki Omwamoni ne Isuma Omumowaabu, baali bamu ku balwanyi ba Kabaka Dawudi abazira. (1 Byom. 11:26, 39, 46; 12:1) Ne Luusi Omumowaabu yafuuka omuweereza wa Yakuwa omwesigwa.​—Luus. 1:4, 16, 17.

Tewekkiriranyanga, wadde akatono bwe kati

11. Biki bye tuyigira ku ngeri Isirayiri gye yakolaganamu n’Abaamoni, Abamowaabu, n’Abeedomu?

11 Biki bye tuyigira ku ngeri Isirayiri gye yakolaganamu n’amawanga ago? Ekisooka, Abayisirayiri bwe baalekeranga awo okuba obulindaala, baatandikanga okwenyigira mu bikolwa eby’okusinza okw’obulimba okw’amawanga ago ge baalinako oluganda, gamba ng’okusinza katonda w’Abamowaabu eyali ayitibwa Bbaali ow’e Pyoli ne katonda w’Abaamoni eyali ayitibwa Moleki. (Kubal. 25:1-3; 1 Bassek. 11:7) Ekintu ekifaananako n’ekyo kiyinza okututuukako ne leero. Ab’eŋŋanda zaffe abataweereza Yakuwa bayinza okutupikiriza nga baagala twekkiriranye. Ng’ekyokulabirako, bayinza obutategeera nsonga lwaki tetukuza Ppaasika, Ssekukkulu, oba okwenyigira mu bulombolombo abantu bangi bwe beenyigiramu obulina akakwate n’eddiini ez’obulimba. Wadde nga bayinza okuba nga tebalina kigendererwa kibi, bayinza okugezaako okutusendasenda twekkiriranye. Nga kikulu obutekkiriranya! Ng’ebyafaayo bya Isirayiri bwe biraga, ne bwe twekkiriranyaamu akatono bwe kati, kyonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.

12, 13. Kuyigganyizibwa kwa ngeri ki kwe tuyinza okwolekagana nakwo, naye kiki ekiyinza okubaawo singa tusigala nga tuli beesigwa?

12 Waliwo ekirala kye tuyigira ku nkolagana ya Isirayiri ne Amoni, Mowaabu, ne Edomu. Ab’eŋŋanda zaffe abataweereza Yakuwa bayinza okutuyigganya ennyo. Yesu yagamba nti ebiseera ebimu obubaka bwe tubuulira buyinza okuleetawo ‘enjawukana wakati w’omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina.’ (Mat. 10:35, 36) Yakuwa yalagira Abayisirayiri obutawakula ntalo na mawanga ge baalinako oluganda, era naffe twewala okuba n’obukuubagano n’ab’eŋŋanda zaffe abataweereza Yakuwa. Naye ab’eŋŋanda zaffe abo bwe batuyigganya, tekitwewuunyisa.​—2 Tim. 3:12.

13 Ab’eŋŋanda zaffe ne bwe baba nga tebatuziyiza butereevu kuweereza Yakuwa, tetusaanidde kubawuliriza kusinga bwe tuwuliriza Yakuwa. Lwaki? Kubanga Yakuwa gwe tusaanidde okukulembeza mu bulamu bwaffe. (Soma Matayo 10:37.) Ate era bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, abamu ku b’eŋŋanda zaffe bayinza okuba nga Zereki, Isuma, ne Luusi, ne batwegattako mu kusinza okulongoofu. (1 Tim. 4:16) Bwe kityo nabo basobola okutandika okuweereza Katonda omu yekka ow’amazima. N’ekivaamu, Yakuwa abaagala era abakuuma.

Abalabe ba Yakuwa ‘Baabonerezebwa Nnyo’

14, 15. Abafirisuuti baayisa batya Abayisirayiri?

14 Abafirisuuti baava ku kizinga ky’e Kuleete ne basenga mu nsi oluvannyuma Yakuwa gye yasuubiza okuwa Ibulayimu ne bazzukulu be. Ibulayimu ne Isaaka bombi baakolaganako n’Abafirisuuti. (Lub. 21:29-32; 26:1) Mu kiseera Abayisirayiri we baayingirira mu Nsi Ensuubize, Abafirisuuti baali bafuuse eggwanga ery’amaanyi eryalina eggye ery’amaanyi ennyo. Abafirisuuti baasinzanga bakatonda ab’obulimba, gamba nga Bbaali-zebubi ne Dagoni. (1 Sam. 5:1-4; 2 Bassek. 1:2, 3) Oluusi n’Abayisirayiri baasinzanga bakatonda abo.​—Balam. 10:6.

15 Olw’okuba Abayisirayiri tebaali beesigwa, Yakuwa yaleka Abafirisuuti ne banyigiriza Abayisirayiri okumala emyaka mingi. (Balam. 10:7, 8; Ezk. 25:15) Abafirisuuti baanyigiriza nnyo Abayisirayiri a era baabatta nnyo. (1 Sam. 4:10) Naye Abayisirayiri bwe beenenyanga ne badda eri Yakuwa, Yakuwa yabanunulanga. Yassaawo abasajja nga Samusooni, Sawulo, ne Dawudi okununula abantu be. (Balam. 13:5, 24; 1 Sam. 9:15-17; 18:6, 7) Ate era nga Ezeekyeri bwe yagamba, Abafirisuuti ‘baabonerezebwa nnyo,’ Abababulooni era n’oluvannyuma Abayonaani bwe baalumba ensi yaabwe.​—Ezk. 25:15-17.

16, 17. Kiki kye tuyigira ku ngeri Abafirisuuti gye baayisaamu Abayisirayiri?

16 Kiki kye tuyigira ku ngeri Abafirisuuti gye baayisaamu Abayisirayiri? Abantu ba Yakuwa leero nabo bayigganyiziddwa agamu ku mawanga agasingayo okuba ag’amaanyi. Obutafaananako Isirayiri, bo basigadde banyweredde ku Yakuwa. Oluusi abalabe ba Yakuwa balabika ng’ababa bawangudde. Ng’ekyokulabirako, ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20, gavumenti ya Amerika yagezaako okukomya omulimu gw’abantu ba Yakuwa bwe yasalira abo abaali batwala obukulembeze mu kibiina ekibonerezo eky’okusibibwa mu kkomera okumala emyaka mingi. Mu kiseera kya Ssematalo ow’okubiri, ekibiina ky’Abanazi mu Bugirimaani kyagezaako okusaanyaawo abantu ba Katonda. Kyasiba mu kkomera Abajulirwa ba Yakuwa nkumi na nkumi era ne kitta n’abalala bangi nnyo. Ssematalo oyo bwe yaggwa, gavumenti ya Soviet Union yayigganya nnyo Abajulirwa ba Yakuwa okumala emyaka mingi era bangi ku baganda baffe baasindikibwa mu nkambi z’abasibe oba baawaŋŋangusibwa mu bitundu ebyesudde.

17 Gavumenti ezitali zimu ziyinza okweyongera okuwera omulimu gw’okubuulira, okusiba abantu ba Katonda mu makomera, oba okutta abamu ku bo. Ekyo kyandituleetedde okutya oba okulekera awo okwesiga Yakuwa? Nedda! Yakuwa ajja kukuuma abantu be abeesigwa. (Soma Matayo 10:28-31.) Waliwo gavumenti ez’amaanyi ezaali zinyigiriza abantu ba Yakuwa ezaasaanawo so ng’ate bo abantu ba Yakuwa beeyongera bweyongezi bungi. Mu kiseera ekitali kya wala, ekyo ekyatuuka ku Bafirisuuti kijja kutuuka ku gavumenti z’abantu zonna. Zijja kuwalirizibwa okumanya Yakuwa. Okufaananako Abafirisuuti, zijja kusaanyizibwawo ddala!

‘Eby’Obugagga Ebingi’ Tebyabawa Bukuumi bwa Nnamaddala

18. Ttuulo kyali kibuga kya ngeri ki?

18 Ekibuga Ttuulo b kye kimu ku bibuga ebyali bisinga okukolerwamu eby’obusuubuzi mu biseera by’edda. Ebugwanjuba wa Ttuulo waaliyo Ennyanja Meditereniyani, era ku nnyanja eyo emmeeri za Ttuulo zaasaabalizangako ebyamaguzi okubitwala mu bitundu ebitali bimu. Ebuvanjuba waaliyo enguudo nnyingi abasuubuzi mwe baayitanga ne batuuka mu nsi ez’ewala. Okumala ebyasa bingi, Ttuulo yafuna eby’obugagga bingi okuva mu nsi ez’ewala. Abasuubuzi baayo baagaggawala nnyo ne batuuka n’okwetwala ng’abaami.​—Is. 23:8.

19, 20. Njawulo ki eyaliwo wakati w’abantu b’omu Ttuulo n’ab’omu Gibiyoni?

19 Mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Dawudi ne Sulemaani, Isirayiri yakolagana nnyo ne Ttuulo mu by’obusuubuzi. Olubiri lwa Dawudi n’oluvannyuma yeekaalu ya Sulemaani bwe byali bizimbibwa, Ttuulo yaweereza eby’okukozesa awamu n’abakozi okuyamba mu kuzimba. (2 Byom. 2:1, 3, 7-16) Ekyo kye kiseera Abayisirayiri mwe baasingira okuba obulungi mu by’omwoyo era Yakuwa yabawa emikisa. (1 Bassek. 3:10-12; 10:4-9) Tewali kubuusabuusa abantu b’omu Ttuulo bangi baafuna akakisa okuyiga ebikwata ku kusinza okulongoofu, okumanya Yakuwa, n’okulaba emikisa egiva mu kuweereza Katonda ow’amazima!

20 Wadde kyali kityo, abantu b’omu Ttuulo baasigala baagala nnyo eby’obugagga. Tebaakoppa kyakulabirako ky’abantu b’e Gibiyoni, abaawulira obuwulizi ebikwata ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo ne basalawo okufuuka abaweereza be. (Yos. 9:2, 3, 22–10:2) Oluvannyuma abantu b’omu Ttuulo baatandika n’okuyigganya abantu ba Katonda era ne batunda n’abamu mu buddu.​—Zab. 83:2, 7; Yow. 3:4, 6; Am. 1:9.

Tetusaanidde kutwala bya bugagga nga bbugwe

21, 22. Kiki ekyatuuka ku Ttuulo, era lwaki?

21 Okuyitira mu Ezeekyeri, Yakuwa yagamba abantu b’omu Ttuulo nti: “Laba, ndi mulabe wo ggwe Ttuulo, era ng’ennyanja bw’esitula amayengo gaayo, nange nja kuleeta amawanga mangi gakulwanyise. Gajja kuzikiriza bbugwe wa Ttuulo era gamenye n’eminaala gyakyo, era nja kukikalakatako ettaka nkifuule olwazi olwereere olumasamasa.” (Ezk. 26:1-5) Abantu b’omu Ttuulo baali beesiga eby’obugagga byabwe nga bakitwala nti byali bibawa obukuumi obufaananako obwa bbugwe w’ekibuga kyabwe eky’oku kizinga eyalina obuwanvu bwa ffuuti 150. Abantu abo bandibadde bassaayo omwoyo ku bigambo bya Sulemaani bino: “Ebintu by’omugagga kye kibuga kye ekiriko bbugwe; biringa ekigo mu kulaba kwe.”​—Nge. 18:11.

22 Abababulooni n’Abayonaani bwe baatuukiriza obunnabbi bwa Ezeekyeri, abantu b’omu Ttuulo baakitegeera nti obukuumi eby’obugagga byabwe ne bbugwe waabwe bwe byali bibawa tebwali bwa nnamaddala. Oluvannyuma lw’okuzikiriza Yerusaalemi, Abababulooni baalwanyisa Ttuulo okumala emyaka 13. (Ezk. 29:17, 18) Ate mu 332 E.E.T., Alekizanda Omukulu yatuukiriza ekintu ekirala ekyali mu bunnabbi bwa Ezeekyeri. c Eggye lye lyakuŋŋaanya ebifunfugu n’ebintu ebirala ebyali bisigaddewo ng’ekibuga kya Ttuulo eky’oku lukalu kimaze okuzikirizibwa ne babisuula mu mazzi ne bakola ekkubo erituuka ku kibuga kya Ttuulo eky’oku kizinga. (Ezk. 26:4, 12) Alekizanda yamenya bbugwe w’ekibuga ekyo, n’akinyaga, n’atta abasirikale n’abantu baamu bangi nnyo, era abalala bangi nnyo n’abatunda mu buddu. Abantu b’omu Ttuulo baawalirizibwa okumanya Yakuwa bwe baakiraba nti ‘eby’obugagga ebingi’ tebiwa bukuumi bwa nnamaddala.​—Ezk. 27:33, 34.

Wadde nga Ttuulo kyali kirabika ng’ekirina obukuumi obw’amaanyi, kyazikirizibwa nga Ezeekyeri bwe yali agambye (Laba akatundu 22)

23. Kiki kye tuyigira ku bantu b’omu Ttuulo?

23 Kiki kye tuyigira ku bantu b’omu Ttuulo? Tetusaanidde kukkiriza ‘bulimba bwa bugagga’ kutuleetera kwesiga bya bugagga nti bisobola okutuwa obukuumi obulinga obwa bbugwe. (Mat. 13:22) Tetusobola “kuba baddu ba Katonda na ba Byabugagga.” (Soma Matayo 6:24.) Abo abaweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna be bokka abalina obukuumi obwa nnamaddala. (Mat. 6:31-33; Yok. 10:27-29) Obunnabbi obukwata ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu bujja kutuukirizibwa mu bujjuvu, ng’obunnabbi obukwata ku Ttuulo bwe bwatuukirizibwa mu bujjuvu. Mu kiseera ekyo, abo abeesiga eby’obugagga bajja kuwalirizibwa okumanya Yakuwa, bw’anaazikiriza enteekateeka y’eby’obusuubuzi ejjudde abantu ab’omululu.

Obufuzi Obwali ‘ng’Olumuli’

24-26. (a) Lwaki Yakuwa yayita Misiri “olumuli”? (b) Kabaka Zeddeekiya yajeemera atya Yakuwa, era biki ebyavaamu?

24 Okuviira ddala emabega nga n’ekiseera kya Yusufu tekinnatuuka okutuuka mu kiseera Abababulooni we baalumbira Yerusaalemi, Misiri yayoleka obuyinza bungi ku Nsi Ensuubize. Okuva bwe kiri nti Misiri yali ebaddewo okumala ekiseera kiwanvu nnyo, yali erabika nga nnywevu ng’omuti omukulu. Naye mu maaso ga Yakuwa yali nnafu ‘ng’olumuli.’​—Ezk. 29:6.

25 Kyokka ye Kabaka Zeddeekiya eyali omubi, Misiri yali tagitwala bw’atyo. Okuyitira mu nnabbi Yeremiya, Yakuwa yali yagamba Zeddeekiya okugondera kabaka wa Babulooni. (Yer. 27:12) Zeddeekiya yalayira n’okulayira mu linnya lya Yakuwa nti yali tajja kujeemera Nebukadduneeza. Naye oluvannyuma yava ku bulagirizi bwa Yakuwa, n’ajeemera Nebukadduneeza, n’asaba Misiri okumuyamba okulwanyisa Abababulooni. (2 Byom. 36:13; Ezk. 17:12-20) Kyokka Abayisirayiri abeesiga Misiri ebyabaviiramu tebyali birungi. (Ezk. 29:7) Misiri yali erabika nga ya maanyi nnyo ng’eringa “ogusolo ogunene ogw’omu nnyanja.” (Ezk. 29:3, 4) Naye Yakuwa yagamba nti yandigirobye ng’abavubi bwe baloba ggoonya z’omu Mugga Kiyira. Yanditadde amalobo mu mba zaayo n’agitwala n’agizikiriza. Ekyo Yakuwa yakikola bwe yasindika Abababulooni ne bawamba Misiri.​—Ezk. 29:9-12, 19.

26 Kiki ekyatuuka ku Zeddeekiya, kabaka ataali mwesigwa? Olw’okuba Zeddeekiya yajeemera Yakuwa, Ezeekyeri yagamba nti ‘omwami oyo omubi’ yandiggiddwako engule ye era nti obufuzi bwe bwandizikiriziddwa. Naye era ebigambo bya Ezeekyeri byawa essuubi. (Ezk. 21:25-27) Okuyitira mu Ezeekyeri, Yakuwa yagamba nti kabaka ow’omu lulyo olulangira, ‘nnyini ngule,’ yandiweereddwa entebe y’obwakabaka. Mu ssuula eddako tujja kumanya kabaka oyo.

27. Kiki kye tuyigira ku ngeri Isirayiri gye yakolaganamu ne Misiri?

27 Kiki kye tuyigira ku ngeri Isirayiri gye yakolaganamu ne Misiri? Abantu ba Yakuwa balina okwewala okussa obwesige mu gavumenti z’abantu. Tebalina kulowooza nti zisobola okubawa obukuumi obwa nnamaddala. Tetusaanidde ‘kuba ba nsi,’ ka kibe ne mu birowoozo byaffe. (Yok. 15:19; Yak. 4:4) Gavumenti z’abantu ziyinza okulabika ng’ez’amaanyi, naye okufaananako Misiri ey’edda, nnafu ng’olumuli. Nga tekiba kya magezi kussa bwesige bwaffe mu bantu obuntu mu kifo ky’okubussa mu Mufuzi w’obutonde bwonna!​—Soma Zabbuli 146:3-6.

Ne bwe kiba nti tewaliiwo balala batulaba, tetusaanidde kubaako ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi by’ensi eno (Laba akatundu 27)

Amawanga Gajja “Kumanya”

28-30. Njawulo ki eriwo wakati w’engeri amawanga gye ‘gajja okumanyaamu Yakuwa’ n’engeri ffe gye tumumanyiimu?

28 Mu kitabo kya Ezeekyeri, enfunda n’enfunda Yakuwa agamba nti amawanga gajja “kumanya nti nze Yakuwa.” (Ezk. 25:17) Ebigambo ebyo byatuukirizibwa mu biseera eby’edda, Yakuwa bwe yatuukiriza omusango gwe yasalira amawanga agaayigganya abantu be. Naye bijja kutuukirizibwa ku kigero ekisingawo mu kiseera kyaffe. Mu ngeri ki?

29 Okufaananako abantu ba Katonda ab’edda, naffe amawanga gatutwala ng’endiga eri yokka etalina bukuumi. (Ezk. 38:10-13) Nga bwe tujja okulaba mu Ssuula 17 ne 18 ez’ekitabo kino, mu kiseera ekitali kya wala, amawanga gajja kukola olulumba sinziggu ku bantu ba Katonda. Naye bwe ganaabalumba, gajja kumanya ani ddala nnannyini buyinza. Gajja kuwalirizibwa okumanya Yakuwa, kwe kugamba, gajja kutegeera nti y’agwanidde okufuga, bw’anaagazikiriza ku lutalo Amagedoni.​—Kub. 16:16; 19:17-21.

30 Naye ffe Yakuwa ajja kutukuuma era ajja kutuwa emikisa. Lwaki? Kubanga tukozesezza akakisa akaliwo kati okukiraga nti tumanyi Yakuwa, nga tumwesiga, nga tumugondera, era nga tumusinza mu ngeri gy’asiima.​—Soma Ezeekyeri 28:26.

a Ng’ekyokulabirako, Abafirisuuti baawera abaweesi mu Isirayiri. Abayisirayiri baalinanga kugenda eri Abafirisuuti okuwagala ebintu byabwe bye baakozesanga mu nnimiro. Baabasasuzanga ssente ezenkana ezo omuntu ze yakoleranga okumala ennaku eziwera.​—1 Sam. 13:19-22.

b Ekibuga kya Ttuulo ekyasooka kirabika kyazimbibwa ku lwazi olwali mu nnyanja, mayiro nga 30 ebukiikakkono w’olusozi Kalumeeri. Oluvannyuma, ekitundu ekirala eky’ekibuga ekyo kyazimbibwa ku lukalu. Mu Lwebbulaniya ekibuga Ttuulo kiyitibwa, Sur, era litegeeza “Olwazi.”

c Isaaya, Yeremiya, Yoweeri, Amosi, ne Zekkaliya nabo baaliko obunnabbi obukwata ku Ttuulo bwe baalangirira obwatuukirizibwa mu bujjuvu.​—Is. 23:1-8; Yer. 25:15, 22, 27; Yow. 3:4; Am. 1:10; Zek. 9:3, 4.