Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 8

“Nja Kuziteerawo Omusumba Omu”

“Nja Kuziteerawo Omusumba Omu”

EZEEKYERI 34:⁠23

OMULAMWA: Obunnabbi buna obukwata ku Masiya n’engeri gye butuukirira ku Yesu

1-3. Kiki ekinakuwaza Ezeekyeri, era kiki kyaluŋŋamizibwa okuwandiika?

 EZEEKYERI yaakamala emyaka mukaaga mu buwaŋŋanguse. a Nnabbi oyo munakuwavu nnyo olw’engeri embi Yuda, ensi mw’azaalibwa, gy’efugibwamu. Alabye bakabaka ab’enjawulo nga bafuga ensi eyo.

2 Ezeekyeri yazaalibwa mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Yosiya eyali omwesigwa. Ezeekyeri ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okumanya ku kaweefube Yosiya gwe yakola ow’okusaanyaawo ebifaananyi ebisinzibwa n’okuzzaawo okusinza okulongoofu mu Yuda. (2 Byom. 34:1-8) Naye okufuba kwa Yosiya tekwaleetawo nkyukakyuka za nkalakkalira kubanga bakabaka abasinga obungi abaamuddirira baali basinza ebifaananyi. N’olwekyo tekyewuunyisa nti eggwanga lya Yuda bwe lyali lifugibwa bakabaka abo lyayonooneka nnyo mu by’omwoyo ne mu mpisa. Naye ddala waali wakyaliwo essuubi? Yee!

3 Yakuwa yaluŋŋamya Ezeekyeri okuwandiika obunnabbi obukwata ku Masiya, Omufuzi era Omusumba eyali agenda okujja era eyandizizzaawo ddala okusinza okulongoofu era n’alabirira bulungi endiga za Yakuwa. Tusaanidde okussaayo omwoyo ku bunnabbi obwo, kubanga okutuukirizibwa kwabwo kukwata ku biseera byaffe eby’omu maaso. Kati ka tulabe obunnabbi bwa mirundi ena obukwata ku Masiya obusangibwa mu kitabo kya Ezeekyeri.

“Omutunsi” Gufuuka “Omuti gw’Entolokyo Ogulabika Obulungi”

4. Bunnabbi ki Ezeekyeri bwe yalagirwa okwogera, era Yakuwa yatandika atya okwogera obunnabbi obwo?

4 Awo nga mu mwaka gwa 612 E.E.T, ‘Yakuwa yayogera’ ne Ezeekyeri n’amutegeeza obunnabbi obukwata ku bufuzi bwa Masiya era obulaga ensonga lwaki abantu basaanidde okussa obwesige mu bufuzi obwo. Yakuwa yatandika okwogera obunnabbi obwo ng’agamba Ezeekyeri okugerera Abayudaaya be yali nabo mu buwaŋŋanguse olugero olwali lulaga obutali bwesigwa bw’abafuzi ba Yuda era olwali lulaga nti Masiya, Omufuzi atuukiridde, yali yeetaagibwa.​—Ezk. 17:1, 2.

5. Olugero Ezeekyeri lwe yagera lugamba lutya?

5 Soma Ezeekyeri 17:3-10. Okusinziira ku lugero olwo: “Empungu ennene” eggya akatabi akasembayo waggulu ku muti gw’entolokyo n’ekatwala n’ekasimba “mu kibuga ky’abasuubuzi.” Empungu eyo era etwala ezimu “ku nsigo ez’omu nsi” n’ezisimba ku ttaka eggimu “awali amazzi amangi.” Ensigo zimera ne zivaamu ‘omuzabbibu ogulanda.’ Oluvannyuma wabaawo “empungu endala ennene” ejja. Omuzabbibu gusindika emirandira gyagwo ne “gugyolekeza” empungu eyo endala nga gwagala eguggye mu kifo ekyo egutwale mu kifo ekirala awali amazzi amangi. Yakuwa avumirira ekikolwa ky’omuzabbibu ogwo n’alaga nti emirandira gyagwo gijja kukuulibwayo ‘gukalire ddala.’

Empungu ennene eyasooka yali ekiikirira Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni (Laba akatundu 6)

6. Nnyonnyola amakulu g’olugero olwo.

6 Olugero olwo lulina makulu ki? (Soma Ezeekyeri 17:11-15.) Mu 617 E.E.T, Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni (“empungu ennene” eyasooka) yalumba Yerusaalemi. Yaggya Yekoyakini kabaka wa Yuda (“akatabi akasembayo waggulu”) ku ntebe y’obwakabaka n’amutwala e Babulooni (‘ekibuga ky’abasuubuzi’). Oluvannyuma Nebukadduneeza yassa Zeddeekiya (omu “ku nsigo ez’omu nsi”) ku ntebe y’obwakabaka mu Yerusaalemi. Kabaka Zeddeekiya yalayizibwa mu linnya lya Katonda nti yali ajja kugondera kabaka wa Babulooni. (2 Byom. 36:13) Naye Zeddeekiya yamenya ekirayiro ekyo n’ajeemera kabaka wa Babulooni, n’asalawo okunoonya obuyambi okuva eri Falaawo, kabaka wa Misiri (“empungu endala ennene”), naye Falaawo teyasobola kumuyamba. Yakuwa yanenya Zeddeekiya olw’obutanywerera ku kirayiro kye yakola. (Ezk. 17:16-21) N’ekyavaamu, Zeddeekiya yaggibwa ku bwakabaka era oluvannyuma yafiira mu kkomera e Babulooni.​—Yer. 52:6-​11.

7. Biki bye tuyigira ku lugero Ezeekyeri lwe yagera?

7 Biki bye tuyiga mu lugero olwo? Ekisooka, abaweereza ba Yakuwa tulina okutuukiriza bye tweyama. Yesu yagamba nti: “Ekigambo kyammwe ‘Yee,’ kibeerenga yee, n’ekigambo kyammwe ‘Nedda,’ kibeerenga nedda.” (Mat. 5:37) Bwe twesanga mu mbeera nga kitwetaagisa okulayira mu maaso ga Katonda okukakasa nti bye tugenda okwogera ge mazima, gamba nga bwe kiba mu kkooti, ekirayiro kye tuba tukoze tulina okukitwala nga kikulu. Eky’okubiri, tusaanidde okwegendereza abo be tussaamu obwesige. Bayibuli egamba nti: “Temwesiganga bafuzi, oba omuntu omulala yenna atasobola kulokola.”​—Zab. 146:3.

8-10. Bunnabbi ki Yakuwa bwe yawa obukwata ku Masiya Omufuzi eyali agenda okujja, era obunnabbi obwo bwatuukirizibwa butya? (Laba n’akasanduuko “Obunnabbi Obukwata ku Masiya​—Omuti gw’Entolokyo Ogulabika Obulungi.”)

8 Kyokka waliwo omufuzi gwe tusaanidde okwesiga. Ng’olugero olwo olukwata ku katabi akaasimbulizibwa lumaze okugerebwa, Yakuwa era akozesa olulimi olw’okugereesa okuwa obunnabbi obukwata ku Masiya, Omufuzi eyali agenda okujja.

9 Obunnabbi obwo kye bugamba. (Soma Ezeekyeri 17:22-24.) Ku luno Yakuwa y’agenda okubaako ky’akolawo, so si empungu ennene. Yakuwa agenda kuggya omutunsi ‘ku katabi akasembayo ku muti gw’entolokyo omuwanvu, agusimbe ku lusozi oluwanvu era olugulumivu.’ Omutunsi ogwo gujja kukula gufuuke “omuti gw’entolokyo ogulabika obulungi” era “ebinyonyi ebya buli ngeri” bijja kugubeeramu. Ate era “emiti gyonna egy’oku ttale” gijja kumanya nti Yakuwa kennyini ye yakuza omuti ogwo.

10 Okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo. Yakuwa yaggya Omwana we, Yesu Kristo, mu lunyiriri lwa Dawudi (‘omuti gw’entolokyo omuwanvu’) n’amusimba ku Lusozi Sayuuni olw’omu ggulu (‘olusozi oluwanvu era olugulumivu’). (Zab. 2:6; Yer. 23:5; Kub. 14:⁠1) Bw’atyo Yakuwa yagulumiza Omwana we, abalabe be gwe baali batwala ng’omuntu “asingayo okuba owa wansi,” n’amuwa “entebe ya Dawudi jjajjaawe.” (Dan. 4:17; Luk. 1:32, 33) Okufaananako omuti gw’entolokyo ogulabika obulungi era omugulumivu ennyo, Obwakabaka bwa Masiya bujja kufuga ensi yonna era bujja kukolera abantu bonna be bunaafuga ebirungi bingi. Mazima ddala, oyo ye Mufuzi gwe tusaanidde okussaamu obwesige. Abantu bwe banaaba bafugibwa Obwakabaka bwa Yesu, ‘bajja kuba mu mirembe nga tebalina kabi konna ke batya.’​—Nge. 1:33.

11. Kintu ki ekikulu kye tuyigira ku bunnabbi obukwata ku ‘mutunsi’ ogufuuka “omuti gw’entolokyo ogulabika obulungi”?

11 Kye tuyigira ku bunnabbi obwo. Obunnabbi obukwata ku ‘mutunsi’ ogufuuka “omuti gw’entolokyo ogulabika obulungi” butuyamba okuddamu ekibuuzo kino ekikulu ennyo: Ani gwe tusaanidde okussaamu obwesige? Kiba kya busiru okussa obwesige bwaffe mu gavumenti z’abantu ne mu magye gaazo. Okusobola okufuna obukuumi obwa nnamaddala, obwesige bwaffe tusaanidde kubussa mu Kabaka, Yesu Kristo. Obwakabaka bwa Masiya obufugira mu ggulu bwe bwokka obusobola okumalawo ebizibu byonna abantu bye balina.​—Kub. 11:15.

“Nnyini Yo”

12. Yakuwa yakiraga atya nti yali tasazangamu ndagaano gye yakola ne Dawudi?

12 Okusinziira ku ngeri Katonda gye yannyonnyolamu amakulu g’obunnabbi obukwata ku mpungu ebbiri, Ezeekyeri yakitegeera nti Zeddeekiya, kabaka ow’omu lunyiriri lwa Dawudi ataali mwesigwa, yandiggiddwako obwakabaka n’atwalibwa mu buwambe e Babulooni. Ezeekyeri ayinza okuba nga yeebuuza, ‘Kyandiba nti Katonda asazizzaamu endagaano gye yakola ne Dawudi eyali eraga nti wandibaddewo kabaka okuva mu lunyiriri lwa Dawudi eyandifuze emirembe gyonna?’ (2 Sam. 7:12, 16) Bwe kiba nti Ezeekyeri yali yeebuuza ekibuuzo ekyo, teyamala kiseera kiwanvu nga tannafuna kya kuddamu. Awo nga mu 611 E.E.T., omwaka ogw’omusanvu ng’abantu ba Katonda bali mu buwaŋŋanguse, era nga Zeddeekiya akyafuga nga kabaka mu Yuda, Yakuwa yaddamu okwogera ne Ezeekyeri. (Ezk. 20:⁠2) Yakuwa yamuwa obunnabbi obulala obwali bukwata ku Masiya obwalaga nti yali tasazangamu ndagaano gye yakola ne Dawudi. Obunnabbi obwo bwalaga nti Masiya Omufuzi eyali agenda okujja ye yalina okusikira entebe ya Dawudi.

13, 14. Obunnabbi obuli mu Ezeekyeri 21:25-27 bugamba ki, era bwatuukirizibwa butya?

13 Obunnabbi kye bugamba. (Soma Ezeekyeri 21:25-27.) Ng’ayitira mu Ezeekyeri, Yakuwa abaako by’agamba “omwami wa Isirayiri omubi” anaatera okubonerezebwa. Yakuwa agamba omufuzi oyo omubi nti ‘ekiremba n’engule’ (kwe kugamba, obuyinza bw’obwakabaka) byali bigenda kumuggibwako. Obufuzi obwali ‘obwa wansi’ bwali bugenda kugulumizibwa, ate obwo obwali ‘obwa waggulu’ bufeebezebwe. Obufuzi obwandigulumiziddwa bwandifuze okutuusa ‘nnyini yo lwe yandizze’ era Yakuwa yandimuwadde Obwakabaka.

14 Okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo. Mu 607 E.E.T., obwakabaka bwa Yuda obwali obwa “waggulu” era obwali bufugira mu Yerusaalemi bwafeebezebwa, Abababulooni bwe baazikiriza ekibuga Yerusaalemi era ne batwala Kabaka Zeddeekiya mu buwambe. Kati nga tewakyali kabaka ava mu lunyiriri lwa Dawudi afugira mu Yerusaalemi, obufuzi bw’Abamawanga obwa “wansi” bwagulumizibwa ne buba nga bwe bufuga ku nsi. Naye bwali bwa kufuga kumala kiseera kigere. “Ebiseera ebigereke eby’amawanga,” byaggwaako mu 1914, Yakuwa bwe yatuuza Yesu ku ntebe y’obwakabaka. (Luk. 21:24) Okuva bwe kiri nti Yesu yali wa mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi, yali alina ebisaanyizo okuba Kabaka w’Obwakabaka bwa Masiya. b (Lub. 49:10) N’olwekyo Yakuwa bwe yatuuza Yesu ku ntebe y’obwakabaka, yatuukiriza endagaano gye yakola ne Dawudi okumuwa omusika eyanditudde ku ntebe ye ey’obwakabaka emirembe gyonna.​—Luk. 1:32, 33.

Yesu y’asaanidde okuba Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda (Laba akatundu 15)

15. Lwaki tusobola okwesiga Kabaka, Yesu Kristo?

15 Kye tuyigira ku bunnabbi obwo. Tusobola okwesigira ddala Kabaka, Yesu Kristo. Lwaki? Obutafaananako bafuzi b’ensi abalondebwa abantu oba abawamba obuwambi obufuzi, Yesu yalondebwa Yakuwa era ‘n’aweebwa obwakabaka’ obwali bwayogerwako edda nti ye nnyini bwo. (Dan. 7:13, 14) Mazima ddala, tusaanidde okwesiga Kabaka, Yakuwa kennyini gwe yalonda!

“Omuweereza Wange Dawudi,” Ajja “Kuba Musumba Waazo”

16. Yakuwa atwala atya endiga ze, era ‘abasumba ba Isirayiri’ mu kiseera kya Ezeekyeri baayisanga batya endiga ze?

16 Yakuwa, Omusumba ow’Oku Ntikko, afaayo nnyo ku ndiga ze, kwe kugamba, abaweereza be ab’oku nsi. (Zab. 100:⁠3) Afaayo nnyo ku ngeri abo b’akwasizza obuvunaanyizibwa gye balabiriramu endiga ze. Yakuwa kiteekwa okuba nga kyamuyisa bubi nnyo okulaba engeri ‘abasumba ba Isirayiri’ mu kiseera kya Ezeekyeri gye baali bayisaamu endiga ze. Abakulembeze abo endiga ‘baazifugisanga maanyi na bukambwe.’ Bwe kityo, endiga ezo zaabonaabona era nnyingi ku zo zaava ku kusinza okulongoofu.​—Ezk. 34:1-6.

17. Kiki Yakuwa kye yakola abafuzi ba Isirayiri abakambwe, era yanunula atya endiga ze?

17 Kiki Yakuwa kye yakolawo? Yagamba abakulembeze ba Isirayiri nti: “Nja kubavunaana.” Ate era yasuubiza nti: “Nja kununula endiga zange.” (Ezk. 34:10) Bulijjo Yakuwa atuukiriza by’agamba. (Yos. 21:45) Mu 607 E.E.T., Yakuwa yakozesa Abababulooni okuggya obuyinza ku basumba abo abaali beefaako bokka. Nga wayiseewo emyaka 70, Yakuwa yanunula abantu be okuva e Babulooni n’abakomyawo mu nsi yaabwe basobole okuzzaawo okusinza okulongoofu. Naye endiga za Yakuwa zaasigala zifugibwa abafuzi b’ensi. “Ebiseera ebigereke eby’amawanga” byali bya kumala ebyasa bingi.​—Luk. 21:24.

18, 19. Bunnabbi ki Ezeekyeri bwe yayogera mu 606 E.E.T.? (Laba ekifaananyi ku lupapula 84.)

18 Mu 606 E.E.T, nga wayise omwaka nga gumu oluvannyuma lwa Yerusaalemi okuzikirizibwa era ng’ekyabula emyaka mingi Abayisirayiri okuggibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni, Yakuwa yategeeza Ezeekyeri obunnabbi obwali bulaga engeri Yakuwa Omusumba ow’Oku Ntikko gy’afaayo ennyo ku ndiga ze. Obunnabbi obwo bulaga engeri Masiya gye yandirabiriddemu endiga za Yakuwa.

19 Obunnabbi kye bugamba. (Soma Ezeekyeri 34:22-24.) Katonda ‘yanditaddewo omusumba omu,’ gw’ayita “omuweereza wange Dawudi.” Ebigambo “omusumba omu” awamu n’ebigambo “omuweereza wange” biraga nti Omufuzi oyo gwe yanditaddewo yali tagenda kuzzaawo lunyiriri lwa bakabaka abava mu nnyumba ya Dawudi, wabula ye yandibadde omusika wa Dawudi emirembe n’emirembe. Omufuzi oyo era Omusumba oyo yandiriisizza endiga za Katonda era n’afuuka “omukulembeze waazo.” Yakuwa yandikoze “endagaano ey’emirembe” n’endiga ze. “Emikisa [gyandiyiikidde abantu be] ng’enkuba,” era bandibadde mu mirembe, nga bali bulungi. Emirembe tegyandibadde wakati w’abantu na bantu bannaabwe kyokka, naye era gyandibadde ne wakati w’abantu n’ensolo!​—Ezk. 34:25-28.

20, 21. (a) Obunnabbi obukwata ku “omuweereza [wa Katonda] Dawudi” butuukiridde butya? (b) Ebigambo bya Ezeekyeri ebikwata ku ‘ndagaano ey’emirembe’ binaatuukirira bitya mu biseera eby’omu maaso?

20 Okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo. Mu kuyita Omufuzi oyo “omuweereza wange Dawudi,” Katonda yali asonga ku Yesu, muzzukulu wa Dawudi, oyo agwanidde okufuga. (Zab. 89:35, 36) Yesu bwe yali ku nsi, yakiraga nti ‘musumba mulungi,’ era yawaayo obulamu bwe “ku lw’endiga.” (Yok. 10:14, 15) Naye kati alabirira endiga za Katonda ng’asinziira mu ggulu. (Beb. 13:20) Mu 1914, Katonda yafuula Yesu Kabaka era n’amuwa obuvunaanyizibwa obw’okulunda n’okuliisa endiga za Katonda eziri ku nsi. Nga wayise ekiseera kitono, mu 1919, Kabaka Yesu Kristo yalonda “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okuliisa “ab’omu nju,” kwe kugamba, abaweereza ba Katonda abeesigwa abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu awamu n’abo abalina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi. (Mat. 24:45-47) Ng’akolera ku bulagirizi bwa Kristo, omuddu omwesigwa aliisa endiga za Katonda emmere ey’eby’omwoyo. Emmere eyo esobozesezza endiga okufuna emirembe n’obukuumi mu lusuku olw’eby’omwoyo olugenda lugaziwa.

21 Ebigambo bya Ezeekyeri ebikwata ku ‘ndagaano ey’emirembe’ n’emikisa egiyiika ng’enkuba binaatuukirira bitya mu biseera eby’omu maaso? Mu nsi empya, abaweereza ba Yakuwa abanaaba ku nsi bajja kufunira ddala mu bujjuvu emikisa egiva mu ‘ndagaano ey’emirembe.’ Mu lusuku lwa Katonda, abantu abeesigwa bajja kuba mu mirembe kubanga tewajja kubaawo ntalo, bumenyi bw’amateeka, njala, oba obulwadde, era ensolo ez’omu nsiko zijja kuba tezibakolako kabi konna. (Is. 11:6-9; 35:5, 6; 65:21-23) Mazima ddala twesunga nnyo okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda mwe tujja okuba nga ‘tuli mu mirembe, nga tewali atutiisa.’​—Ezk. 34:28.

Omusumba waffe Yesu ali mu ggulu, era yeetegereza engeri endiga za Katonda gye ziyisibwamu (Laba akatundu 22)

22. Yesu atwala atya endiga, era abakadde bayinza batya okumukoppa?

22 Kye tuyigira ku bunnabbi obwo. Okufaananako Kitaawe, Yesu naye afaayo nnyo ku ndiga. Yesu afaayo okulaba nti endiga za Kitaawe ziriisibwa bulungi mu by’omwoyo era nti ziba n’emirembe n’obukuumi mu lusuku olw’eby’omwoyo. Nga kitusanyusa nnyo okuba n’Omufuzi ng’oyo atufaako ennyo! Abo Katonda ne Yesu be bakozesa okulabirira endiga basaanidde okukoppa Yesu nga balabirira endiga. Abakadde basaanidde okulunda endiga nga bakikola “kyeyagalire” era basaanidde okuteerawo endiga ekyokulabirako ekirungi. (1 Peet. 5:2, 3) Abakadde tebasaanidde kuyisa bubi ndiga ya Yakuwa yonna! Basaanidde okujjukira ebigambo Yakuwa bye yagamba abasumba ba Isirayiri abaaliwo mu kiseera kya Ezeekyeri abaali bayisa obubi endiga ze. Yabagamba nti: “Nja kubavunaana.” (Ezk. 34:10) Yakuwa, Omusumba ow’Oku Ntikko, awamu n’Omwana we bafaayo nnyo ku ngeri endiga gye ziyisibwamu.

“Omuweereza Wange Dawudi y’Anaaba Omukulembeze Waabwe Emirembe n’Emirembe”

23. Kiki Yakuwa kye yasuubiza ekikwata ku kugatta awamu eggwanga lya Isirayiri, era yakituukiriza atya?

23 Yakuwa ayagala abaweereza be bamuweereze nga bali bumu. Mu bunnabbi obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu, Katonda yasuubiza nti yandikuŋŋaanyizza abantu be, ab’omu bwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri n’ab’omu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi, n’abagatta wamu ne bafuuka “eggwanga limu,” n’abeera ng’agasse awamu “emiggo” ebiri ne gifuuka “omuggo gumu” mu mukono gwe. (Ezk. 37:15-23) Obunnabbi obwo bwatuukirira Katonda bwe yazzaawo eggwanga lya Isirayiri ne liba bumu, mu Nsi Ensuubize mu 537 E.E.T. c Naye obumu obwo bwali busonga ku bumu obw’ekigero ekya waggulu obwali bugenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Oluvannyuma lw’okugamba nti yandireetedde Isirayiri okuba obumu, Yakuwa yawa Ezeekyeri obunnabbi obulaga engeri Omufuzi eyanditeereddwawo mu biseera eby’omu maaso gye yandigasse awamu abaweereza ba Yakuwa mu nsi yonna ne baba bumu emirembe gyonna.

24. Yakuwa yayogera ki ku Masiya Omufuzi, era obufuzi bwa Masiya bunaaba butya?

24 Obunnabbi kye bugamba. (Soma Ezeekyeri 37:24-28.) Yakuwa addamu okwogera ku Masiya nga “Omuweereza wange Dawudi,” “omusumba omu,” era “omukulembeze.” Kyokka era ku luno amuyita “kabaka.” (Ezk. 37:22) Obufuzi bwa Masiya bunaaba butya? Obufuzi bwe bujja kuba bwa lubeerera. Ebigambo “emirembe n’emirembe” ne “emirembe gyonna” biraga nti obufuzi bwa Masiya bujja kuleetera abantu emikisa egy’olubeerera. d Ate era obufuzi bwe bujja kuleetawo obumu. Abantu bajja kuba bafugibwa “kabaka omu,” nga bagoberera ‘amateeka’ ge gamu, era ‘bajja kuba mu nsi’ nga bali bumu. Obufuzi bwe bujja kuleetera abantu b’anaaba afuga okwongera okusemberera Yakuwa Katonda. Yakuwa ajja kukola “endagaano ey’emirembe” n’abantu abo. Ajja kuba Katonda waabwe era nabo bajja kuba bantu be. Ate era ekifo kye ekitukuvu kijja kuba “wakati mu bo emirembe n’emirembe.”

25. Obunnabbi obukwata ku Masiya Kabaka butuukirizibwa butya?

25 Okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo. Mu 1919, abaweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta baagattibwa wamu wansi “w’omusumba omu,” Kabaka Yesu Kristo. Oluvannyuma, “ekibiina ekinene” okuva “mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi” baagattibwa wamu ne bannaabwe abaafukibwako amafuta. (Kub. 7:⁠9) Bwe kityo, baafuuka “ekisibo kimu” ekiri wansi “w’omusumba omu.” (Yok. 10:16) Abaweereza ba Katonda abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu awamu n’abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi bonna bakolera ku mateeka ga Yakuwa. N’ekivuddemu, bonna bali bumu mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Yakuwa abawadde emirembe era ekifo kye ekitukuvu, ekikiikirira okusinza okulongoofu, kiri wakati mu bo. Yakuwa ye Katonda waabwe era bagitwala nga nkizo ya maanyi okuweereza Yakuwa kati n’emirembe gyonna!

26. Oyinza otya okukuuma obumu mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo?

26 Kye tuyigira ku bunnabbi obwo. Tulina enkizo ya maanyi okuba nga tuli bumu mu nsi yonna era nga tusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima. Kyokka ekyo kituwa obuvunaanyizibwa. Tulina okufuba okukuuma obumu buno bwe tulina. Tulina okusigala nga tuli bumu mu bye tukkiriza ne mu bye tukola. (1 Kol. 1:10) Eyo ye nsonga lwaki tulya ku mmere ey’eby’omwoyo y’emu, tutambulira ku mitindo gy’empisa gye gimu, era twenyigira mu mulimu gwe gumu ogw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. Kyokka ekintu ekisinga okutuleetera okuba obumu kwe kwagala. Bwe tufuba okwoleka okwagala mu ngeri ezitali zimu, gamba nga tulumirirwa abalala, nga tubafaako, era nga tubasonyiwa, kituyamba okusigala nga tuli bumu. Bayibuli egamba nti: “Okwagala . . . kunywereza ddala obumu.”​—Bak. 3:12-14; 1 Kol. 13:4-7.

Yakuwa awa omukisa abaweereza be abafaayo ku bakkiriza bannaabwe (Laba akatundu 26)

27. (a) Okwatibwako otya bw’olowooza ku bunnabbi obukwata ku Masiya obuli mu kitabo kya Ezeekyeri? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu ssuula eziddako?

27 Mazima ddala tuganyulwa nnyo mu bunnabbi obukwata ku Masiya obuli mu kitabo kya Ezeekyeri! Okusoma n’okufumiitiriza ku bunnabbi obwo kituyamba okulaba nti Kabaka waffe omulungi, Yesu Kristo, tusaanidde okumwesiga, y’asaanidde okufuga, musumba mulungi, era nti ajja kutuyamba okusigala nga tuli bumu emirembe gyonna. Tulina enkizo ya maanyi okufugibwa Kabaka Masiya! Tusaanidde okukijjukira nti obunnabbi buno obukwata ku Masiya bwe bumu ku bunnabbi obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu, ng’eno ye nsonga enkulu eyogerwako mu kitabo kya Ezeekyeri. Yakuwa ayitira mu Yesu okukuŋŋaanya awamu abantu be n’okuzzaawo okusinza okulongoofu. (Ezk. 20:41) Mu ssuula eziddako ez’ekitabo kino tugenda kwekenneenya ebikwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu n’engeri ensonga eyo gy’ekulaakulanyizibwamu mu kitabo kya Ezeekyeri.

a Abayudaaya abaasookera ddala okutwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni baatwalibwa mu 617 E.E.T. Bwe kityo, omwaka ogw’omukaaga gwatandika mu 612 E.E.T.

b Obukakafu obulaga nti Yesu yali wa mu lunyiriri lwa Dawudi bulagibwa mu bitabo by’Enjiri.​—Mat. 1:1-16; Luk. 3:23-31.

c Obunnabbi bwa Ezeekyeri obukwata ku miggo ebiri n’engeri gye bwatuukirizibwamu bujja kwogerwako mu Ssuula 12 ey’ekitabo kino.

d Nga kinnyonnyola ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “emirembe n’emirembe” ne “emirembe gyonna,” ekitabo ekimu kigamba nti: “Ekigambo ekyo era kisobola okutegeeza okuwangaala, okubaawo enkalakkalira, n’obutakyuka.”