Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 14

“Lino Lye Tteeka lya Yeekaalu”

“Lino Lye Tteeka lya Yeekaalu”

EZEEKYERI 43:12

OMULAMWA: Okwolesebwa okukwata ku yeekaalu​—Abaaliwo mu kiseera kya Ezeekyeri bye baayiga era naffe bye tuyiga

1, 2. (a) Biki bye twayiga mu ssuula 13 ebikwata ku yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa? (b) Bibuuzo ki ebibiri ebigenda okuddibwamu mu ssuula eno?

 NGA bwe twalaba mu Ssuula 13, yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa si y’emu n’eyo omutume Pawulo gye yayogerako ebyasa bingi oluvannyuma. Era twalaba nti okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kwali kwa kuyamba abantu ba Katonda okulaba obukulu bw’okukolera ku mitindo gya Katonda egikwata ku kusinza okulongoofu. Abantu okusobola okuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, baalina okukolera ku mitindo egyo. Ekyo kituyamba okutegeera ensonga lwaki Yakuwa yaddiŋŋana ebigambo bino emirundi ebiri mu lunyiriri lwe lumu: “Lino lye tteeka lya yeekaalu.”​—Soma Ezeekyeri 43:12.

2 Kati waliwo ebibuuzo ebirala bibiri bye twetaaga okwekenneenya. Ekisooka: Bintu ki ebikulu ebikwata ku mitindo gya Yakuwa egy’okusinza okulongoofu Abayudaaya abaaliwo mu kiseera kya Ezeekyeri bye baayiga mu kwolesebwa okukwata ku yeekaalu? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kijja kutuyamba okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo kino eky’okubiri: Okwolesebwa okwo kulina makulu ki gye tuli mu nnaku zino ez’enkomerero?

Biki Abantu ba Katonda ab’Edda Bye Baayiga mu Kwolesebwa Okukwata ku Yeekaalu?

3. Okuba nti yeekaalu yali ku lusozi oluwanvu ennyo kiyinza kitya okuba nga kyaleetera abantu okukwatibwa ensonyi?

3 Okusobola okuddamu ekibuuzo ekisooka, ka tulowooze ku bintu ebimu ebikulu ebikwata ku yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa. Olusozi oluwanvu. Abantu bayinza okuba nga baakwataganya okwolesebwa kwa Ezeekyeri n’obunnabbi bwa Isaaya obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okw’amazima. (Is. 2:2) Naye okulaba ennyumba ya Yakuwa ng’eri ku lusozi oluwanvu ennyo kyabayigiriza ki? Kyabayamba okukiraba nti okusinza okulongoofu kulina okutwalibwa nga kwa waggulu nnyo era nti kusukkulumye ku kulala kwonna. Kya lwatu nti okusinza okulongoofu kusukkulumye ku kulala, kubanga Oyo eyakuteekawo ‘agulumiziddwa okusinga bakatonda abalala bonna.’ (Zab. 97:9) Naye abantu baali tebatuukiriza ekyo ekyali kibasuubirwamu. Okumala ebyasa bingi, baali balese okusinza okulongoofu okwonoonebwa era baali bakulagajjalidde. N’olwekyo, abantu ab’emitima emirungi bwe baalaba nti ennyumba ya Katonda entukuvu yali egulumiziddwa, ng’eri mu kifo ekya waggulu ddala era eky’ekitiibwa w’erina okubeera, baakwatibwa ensonyi olw’ensobi zaabwe.

4, 5. Kiki abantu abaaliwo mu kiseera kya Ezeekyeri kye baayigira ku miryango emiwanvu ennyo egya yeekaalu?

4 Emiryango emiwanvu ennyo. Mu kwolesebwa, Ezeekyeri yalaba malayika ng’apima emiryango. Emiryango egyo gyali giweza ffuuti nga 100 obuwanvu! (Ezk. 40:14) Ku miryango egyo kwaliko obusenge bw’abakuumi. Kati olwo abo abandyekenneenyezza pulaani ya yeekaalu bandibadde bafuna kya kuyiga ki? Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: “Weetegereze nnyo omulyango oguyingira mu yeekaalu.” Lwaki? Kubanga abantu baaleetanga abantu “abatali bakomole mu mutima ne mu mubiri” mu yeekaalu ya Katonda entukuvu. Biki ebyavaamu? Yakuwa yagamba nti: “Boonoona yeekaalu yange.”​—Ezk. 44:5, 7.

5 Abantu ‘abataali bakomole mu mubiri’ baali tebagondedde kiragiro ekitegeerekeka obulungi Katonda kye yateerawo abantu be okuviira ddala mu biseera bya Ibulayimu. (Lub. 17:9, 10; Leev. 12:1-3) Naye abo ‘abataali bakomole mu mutima’ ekizibu kyabwe kyali kinene n’okusingawo. Baali bawaganyavu, nga mu bugenderevu bagaana okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. Abantu ng’abo baali tebasaanidde kukkirizibwa kuyingira mu nnyumba ya Yakuwa entukuvu! Yakuwa akyawa obunnanfuusi, naye abantu be baali bakkirizza obunnanfuusi okuba mu nnyumba ye. Emiryango n’obusenge bw’abakuumi ebyalabibwa mu kwolesebwa byayamba abantu okukimanya nti ebintu ng’ebyo byali tebikyakkirizibwa mu nnyumba ya Yakuwa! Abo abayingira mu nnyumba ya Yakuwa balina okutambulira ku mitindo egya waggulu egy’obutuukirivu. Ekyo bwe batakikola, Yakuwa tasobola kusiima kusinza kwabwe.

6, 7. (a) Abantu baayigira ki ku bbugwe eyali yeetoolodde yeekaalu? (b) Edda abantu ba Katonda baali bakola ki ennyumba ye? (Laba obugambo obuli wansi.)

6 Bbugwe. Ekintu ekirala ekyewuunyisa mu kwolesebwa okukwata ku yeekaalu ye bbugwe eyali yeetoolodde yeekaalu. Ezeekyeri agamba nti bbugwe oyo yalina obuwanvu bwa mmuli 500 oba ffuuti 5,100 ku buli luuyi. Kyenkana buli luuyi lwali lwenkana mayiro ng’emu obuwanvu! (Ezk. 42:15-20) Naye yo yeekaalu awamu n’empya zaayo byalina obugazi bwa mikono 500 oba ffuuti 850 zokka buli luuyi. N’olwekyo waaliwo ekibangirizi kinene wakati wa yeekaalu ne bbugwe. a Lwaki?

7 Yakuwa yagamba nti: “Kale ka baggyewo obwenzi bwabwe obw’eby’omwoyo n’emirambo gya bakabaka baabwe, babiteeke wala okuva we ndi, olwo nnaabeeranga mu bo emirembe gyonna.” (Ezk. 43:9) Ebigambo “emirambo gya bakabaka baabwe” biyinza okuba nga byali bitegeeza okusinza ebifaananyi. Bwe kityo, okuba nti waaliwo ekibangirizi kinene wakati wa bbugwe ne yeekaalu mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, Yakuwa yali ng’agamba abantu nti: “Obutali bulongoofu obwo bwonna mubutwale wala. Temubusembeza wano.” Abantu bwe bandikuumye okusinza kwabwe nga kulongoofu, Yakuwa yandibadde mu bo.

8, 9. Kiki abantu kye bayinza okuba nga baayigira ku kuwabula Yakuwa kwe yawa abasajja abaali bakulembera abantu be?

8 Okuwabula abo abaali bakulembera abantu. Yakuwa era yanenya nnyo abasajja abaalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu bantu be. Yanenya Abaleevi abaali bamuvuddeko mu kiseera abantu we baasinziza ebifaananyi, era n’asiima abaana ba Zadooki, ‘abaakolanga emirimu egy’omu yeekaalu ye ng’Abayisirayiri bamuvuddeko.’ Yakuwa yayoleka obwenkanya n’obusaasizi bwe yalamula abantu abo, okusinziira ku bikolwa byabwe. (Ezk. 44:10, 12-16) Ate era n’abaami ba Isirayiri nabo baanenyezebwa nnyo.​—Ezk. 45:9.

9 Bwe kityo Yakuwa yakiraga nti abasajja abo abaali bakulembera abantu be baali bavunaanyizibwa gy’ali ku ngeri gye baali batuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwabwe. Nabo baali beetaaga okuwabulwa, okunenyezebwa, n’okukangavvulwa. Be baalina okuwoma omutwe mu kukolera ku mitindo gya Yakuwa!

10, 11. Bukakafu ki obulaga nti abamu ku Bayisirayiri abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse baakolera ku bye baayiga mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna?

10 Abayisirayiri abaddayo ku butaka baakolera ku ebyo bye baayiga mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna? Kya lwatu nti tetusobola kumanyira ddala ekyo abasajja abo n’abakazi abeesigwa abaaliwo mu kiseera ekyo kye baali balowooza ku kwolesebwa okwo. Naye Ekigambo kya Katonda kitubuulira bingi ku ebyo Abayisirayiri abaddayo ku butaka bye baakola n’engeri gye baatwalamu okusinza okulongoofu. Baakolera ku misingi egiri mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna? Tuyinza okugamba nti baagikolerako, naddala bwe tubageraageranya ku bannaabwe abaaliwo ng’okuwaŋŋangusibwa e Babulooni tekunnabaawo.

11 Abasajja abeesigwa, gamba nga nnabbi Kaggayi ne Zekkaliya, Ezera kabona era eyali omukoppolozi, ne Nekkemiya eyali gavana, baafuba nnyo okuyigiriza abantu emisingi egifaananako egyo egiri mu kwolesebwa okukwata ku yeekaalu Ezeekyeri kwe yafuna. (Ezer. 5:1, 2) Baayigiriza abantu nti okusinza okulongoofu kwe kulina okutwala ekifo ekisooka mu bulamu, so si kunoonya bya bugagga oba ebintu ebyabwe ku bwabwe. (Kag. 1:3, 4) Baakikkaatiriza nti emitindo gya Yakuwa egy’okusinza okulongoofu girina okugobererwa. Ng’ekyokulabirako, Ezera ne Nekkemiya baalagira abantu okugoba abakazi abagwira abaali babaviiriddeko okuddirira mu by’omwoyo. (Soma Ezera 10:10, 11; Nek. 13:23-27, 30) Ate kwo okusinza ebifaananyi? Kirabika oluvannyuma lw’Abayisirayiri okuva mu buwaŋŋanguse, baakyayira ddala okusinza ebifaananyi, akatego ke baali bamaze emyaka mingi nga bakagwamu. Ate bo bakabona n’abaami, oba abakungu? Ng’okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna bwe kulaga, be bamu ku abo Yakuwa be yawabula era be yanenya. (Nek. 13:22, 28) Bangi baakolera ku kuwabula okwo.​—Ezer. 10:7-9, 12-14; Nek. 9:1-3, 38.

Nekkemiya bwe yali akolera wamu n’abantu, yabayigiriza ebizingirwa mu kusinza okulongoofu (Laba akatundu 11)

12. Yakuwa yawa atya abantu be emikisa nga bamaze okuddayo ku butaka?

12 Yakuwa yawa abantu be emikisa. Abantu baalina enkolagana ennungi ne Yakuwa, baali balamu bulungi, era ensi yali ntegeke bulungi, ekintu ekyali kirudde okubaawo. (Ezer. 6:19-22; Nek. 8:9-12; 12:27-30, 43) Lwaki yabawa emikisa? Kubanga baali batandise okukolera ku mitindo gye egy’okusinza okulongoofu. Baakolera ku misingi egiri mu kwolesebwa okukwata ku yeekaalu. Mu bufunze, tusobola okugamba nti okwolesebwa okukwata ku yeekaalu Ezeekyeri kwe yafuna kwaganyula abantu abaali mu buwaŋŋanguse mu ngeri bbiri enkulu. (1) Kwabayigiriza ebikwata ku mitindo gya Yakuwa egy’okusinza okulongoofu n’engeri gye baalina okugikolerako. (2) Kwalimu obunnabbi obuwa essuubi. Kwalaga nti okusinza okulongoofu kwandizziddwawo, era kwalaga nti Yakuwa yandiwadde abantu be emikisa bwe bandimusinzizza mu ngeri gy’asiima. Naye ekyebuuzibwa kiri nti: Okwolesebwa kuno kulina engeri gye kutuukirizibwamu leero?

Ebyo Bye Tuyigira mu Kwolesebwa Ezeekyeri Kwe Yafuna

13, 14. (a) Tumanya tutya nti okwolesebwa okukwata ku yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba kutuukirizibwa mu kiseera kyaffe? (b) Okwolesebwa okwo kutuganyula kutya? (Laba n’akasanduuko 13A, “Yeekaalu za Njawulo, eby’Okuyiga Bya Njawulo.”)

13 Ddala tuyinza okugamba nti okwolesebwa okukwata ku yeekaalu Ezeekyeri kwe yafuna naffe kutukwatako leero? Yee! Lowooza ku kufaanagana okuliwo wakati w’ennyumba ya Katonda eri ku “lusozi oluwanvu ennyo” Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa n’obunnabbi bwa Isaaya obulaga nti ‘olusozi lw’ennyumba ya Yakuwa lwandinywezeddwa waggulu w’ensozi.’ Isaaya yagamba nti obunnabbi obwo bwandituukiriziddwa “mu nnaku ezisembayo,” oba “mu nnaku ez’enkomerero.” (Ezk. 40:2; Is. 2:2-4; obugambo obuli wansi; laba ne Mikka 4:1-4.) Obunnabbi obwo bwombi bukwata ku kiseera eky’ennaku ez’enkomerero, okuva mu 1919, okusinza okulongoofu bwe kwazzibwawo ne kugulumizibwa, nga kulinga okuteekeddwa ku lusozi oluwanvu ennyo. b

14 Tewali kubuusabuusa nti okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kukwata ku kusinza okulongoofu leero. Ng’okwolesebwa okwo bwe kwaganyula Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse, naffe kutuganyula leero mu ngeri bbiri. (1) Kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okukolera ku mitindo gya Yakuwa egy’okusinza okulongoofu. (2) Kutukakasa nti okusinza okulongoofu kwandizziddwawo era nti Yakuwa yandiwadde abantu be emikisa.

Okukolera ku Mitindo egy’Okusinza Okulongoofu Leero

15. Kiki kye tusaanidde okujjukira nga twetegereza yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa?

15 Kati ka twekenneenye ebimu ku ebyo Ezeekyeri bye yalaba mu kwolesebwa. Kuba akafaananyi nga tuli wamu ne Ezeekyeri nga bamulambuza yeekaalu. Kijjukire nti yeekaalu eno gye tulaba si ye yeekaalu ey’eby’omwoyo, era twagala kufuna bya kuyiga bye tusaanidde okukolerako mu kusinza kwaffe leero. Ebimu ku ebyo bye tuyiga mu kwolesebwa okwo bye biruwa?

16. Kiki kye tuyigira ku bipimo ebyogerwako mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna? (Laba ekifaananyi ku lupapula 148.)

16 Lwaki mulimu okupima kungi? Nga Ezeekyeri alaba, malayika eyali afaanana ng’ekikomo yapima ebintu ebitali bimu ebya yeekaalu, omwali ebisenge, emiryango, obusenge bw’abakuumi, empya, n’ekyoto. Bw’oba osoma ku kwolesebwa okwo, oyinza okuwulira ng’ebipimo ebyogerwako biyitiridde obungi. (Ezk. 40:1–42:20; 43:13, 14) Naye lowooza ku bintu ebikulu bye tuyinza okuyigira ku bipimo ebyo. Ebipimo ebyo byalaga obukulu bw’emitindo gya Yakuwa. Yakuwa ye yassaawo emitindo egyo so si bantu. Abo abalowooza nti bayinza okusinza Katonda mu ngeri bo gye baagala, beerimba. Ate era okupima kalonda yenna akwata ku yeekaalu, bwali bukakafu obulaga nti okusinza okulongoofu kwandizziddwawo. Ate nga buli kimu bwe kyapimibwa mu bujjuvu, byonna Yakuwa bye yasuubiza bijja kutuukirira mu bujjuvu. Bwe kityo okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kwakakasa nti okusinza okulongoofu kwandizziddwawo mu nnaku ez’enkomerero!

Ebipimo bya yeekaalu bikuyigiriza ki? (Laba akatundu 16)

17. Bbugwe wa yeekaalu atujjukiza ki leero?

17 Bbugwe. Nga bwe tulabye, Ezeekyeri yalaba ng’ekifo yeekaalu we yali kyetooloddwa bbugwe. Bbugwe oyo yali akiraga kaati nti abantu ba Katonda baalina okwewalira ddala okuleeta obutali bulongoofu bw’amadiini ag’obulimba mu kusinza okulongoofu, baleme okwonoona ennyumba ya Yakuwa. (Soma Ezeekyeri 43:7-9.) Naffe ekyo kitukwatako nnyo leero! Oluvannyuma lw’abantu ba Katonda okusumululwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene mwe baali bamaze ekiseera ekiwanvu ennyo, Kristo yalonda omuddu omwesigwa era ow’amagezi mu 1919. Nnaddala okuva mu mwaka ogwo, abantu ba Katonda bafubye nnyo okulekayo enjigiriza ez’obulimba, okusinza ebifaananyi, n’ebikolwa ebisibuka mu bukaafiiri. Tetwagala kwesembereza kintu kyonna kiyinza kwonoona kusinza kulongoofu. Ate era tetukolera bizineesi mu bifo mwe tusinziza. Tetugattika bintu ng’ebyo na kusinza kwaffe.​—Mak. 11:15, 16.

18, 19. (a) Kiki kye tuyigira ku miryango gya yeekaalu emiwanvu? (b) Kiki kye twandikoze nga waliwo abavumirira emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu? Waayo ekyokulabirako.

18 Emiryango emiwanvu ennyo. Bwe tufumiitiriza ku miryango emiwanvu Ezeekyeri gye yalaba, kiki kye tuyiga? Awatali kubuusabuusa, okulowooza ku miryango egyo kyayamba Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse okukijjukira nti emitindo gya Yakuwa egy’empisa gya waggulu nnyo. Ate ffe? Tusinziza Yakuwa mu yeekaalu ey’eby’omwoyo. Leero n’okusinga bwe kyali edda, kikulu nnyo okukolera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu n’okwewala obunnanfuusi. (Bar. 12:9; 1 Peet. 1:14, 15) Mu nnaku zino ez’enkomerero, Yakuwa azze awa abantu be obulagirizi bwe beetaaga okusobola okunywerera ku mitindo gye egy’empisa. c Ng’ekyokulabirako, aboonoonyi abateenenya bagobebwa mu kibiina. (1 Kol. 5:11-13) Ate bwo obusenge bw’abakuumi obuli ku miryango gya yeekaalu eyo butuyamba okukiraba nti tewali muntu yenna atasiimibwa mu maaso ga Yakuwa akkirizibwa mu kibiina kye. Ng’ekyokulabirako, omuntu atambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri asobola okuyingira mu Kizimbe ky’Obwakabaka, naye tasobola kusiimibwa Yakuwa okuggyako ng’atereezezza amakubo ge. (Yak. 4:8) Mazima ddala Yakuwa akuumye okusinza okulongoofu nga kuyonjo ne mu nnaku zino ng’emitindo gy’empisa giserebye nnyo!

19 Bayibuli yalaga nti ng’enkomerero eneetera okutuuka, empisa z’abantu zandyonoonese nnyo. Yagamba nti: “Abantu ababi n’abalimba bajja kweyongerera ddala okuba ababi, nga babuzaabuza abalala era nga nabo babuzaabuzibwa.” (2 Tim. 3:13) Leero abantu bangi balimbiddwalimbiddwa nti emitindo gya Yakuwa gikugira nnyo, gyava dda ku mulembe, oba nti mikyamu. Naawe onokkiriza okulimbibwalimbibwa? Ng’ekyokulabirako, watya singa omuntu akugamba nti emitindo gya Yakuwa egikwata ku kulya ebisiyaga si mituufu, onokkiriza ky’akugamba, oba onokkiriziganya n’ekyo Ekigambo kya Katonda kye kigamba nti abo abakola ebikolwa ng’ebyo baba ‘bagwenyufu’? Katonda atugamba okukyawa ebikolwa eby’obugwenyufu. (Bar. 1:24-27, 32) Bwe tusanga abantu abaagala okututeekamu endowooza ng’ezo, tusaanidde okujjukira ekintu kino kye tuyigira ku miryango emiwanvu ennyo egya yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa: Yakuwa tassa mitindo gye egy’obutuukirivu, ensi k’ebe ng’erina ndowooza ki ku mitindo egyo. Tukkiriza ekyo Kitaffe ow’omu ggulu ky’agamba ne tunywerera ku kituufu?

Bwe twenyigira mu kusinza okulongoofu tuba tuwaayo “ssaddaaka ey’okutendereza”

20. Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kuzzaamu kutya ‘ab’ekibiina ekinene’ amaanyi?

20 Empya. Ezeekyeri bwe yalaba oluggya lwa yeekaalu olunene olw’ebweru, kiteekwa okuba nga kyamuleetera essanyu okulowooza ku baweereza ba Yakuwa abangi ennyo abandirukuŋŋaaniddemu. Leero ekifo Abakristaayo kye basinzizaamu kitukuvu nnyo. ‘Ab’ekibiina ekinene’ abasinziza Yakuwa mu luggya olw’ebweru olwa yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo bazzibwamu nnyo amaanyi bwe balowooza ku kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna. (Kub. 7:9, 10, 14, 15) Ezeekyeri yalaba ng’empya zeetooloddwa ebisenge ebiriirwamu, abo abandizzenga okusinza mwe bandibadde baliiranga ssaddaaka ez’emirembe ze bandireesenga. (Ezk. 40:17) Mu ngeri eyo bandibadde ng’abaliira awamu ne Yakuwa ekijjulo, ekintu ekyandyolese nti waliwo emirembe wakati waabwe naye! Leero tetuwaayo ssaddaaka ng’ezo Abayudaaya ze baawangayo nga bali wansi w’Amateeka ga Musa. Naye tuwaayo “ssaddaaka ey’okutendereza” bwe twenyigira mu kusinza okulongoofu, gamba nga tubaako bye tuddamu mu nkuŋŋaana oba nga twenyigira mu mulimu gw’okubuulira. (Beb. 13:15) Ate era Yakuwa atuwa emmere ey’eby’omwoyo. Mu butuufu, tuli bamativu nga batabani ba Koola abaayimbira Yakuwa nga bagamba nti: “Olunaku olumu mu mpya zo lusinga ennaku olukumi mu kifo ekirala kyonna!”​—Zab. 84:10.

21. Kiki Abakristaayo abaafukibwako amafuta kye bayigira ku ebyo ebyogerwa ku bakabona mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna?

21 Bakabona. Ezeekyeri yalaba nti emiryango bakabona n’Abaleevi gye baayitangamu okuyingira mu luggya olw’omunda gyali gifaanana n’egyo abantu abataali bakabona gye baayitangamu nga bayingira mu luggya olw’ebweru. Ekyo kyalaga nti ne bakabona nabo baalina okutuukana n’emitindo gya Yakuwa egy’okusinza okulongoofu. Ate leero? Leero mu bantu ba Katonda tewakyaliwo bwa kabona bwa nsikirano, naye Yakuwa agamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta nti: “Muli ‘ggwanga ddonde, bakabona abaweereza nga bakabaka.’” (1 Peet. 2:9) Bakabona mu Isirayiri ey’edda baasinzizanga mu luggya lwa njawulo. Leero Abakristaayo abaafukibwako amafuta tebasinziza mu kifo kya njawulo, wabula basinziza wamu n’ab’endiga endala. Naye balina enkolagana ey’enjawulo ne Yakuwa kubanga abatwala okuba abaana be. (Bag. 4:4-6) Abakristaayo abaafukibwako amafuta nabo balina bye bayigira mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna. Ng’ekyokulabirako, bakiraba nti bakabona nabo baawabulwanga era baakangavvulwanga. Abakristaayo bonna basaanidde okukijjukira nti ffenna tuli “ekisibo kimu” era tuweerereza wansi “w’omusumba omu.”​—Soma Yokaana 10:16.

22, 23. (a) Biki abakadde bye bayigira ku mwami ayogerwako mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna? (b) Kiki ekiyinza okubaawo mu biseera eby’omu maaso?

22 Omwami. Mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna omwami yalina ekifo kikulu. Teyali wa mu kika omwavanga bakabona, era mu yeekaalu yabanga alina okukolera ku bulagirizi bwa bakabona. Naye yaweerezanga ng’omulabirizi mu bantu ng’abayambako mu kuwaayo ssaddaaka. (Ezk. 44:2, 3; 45:16, 17; 46:2) N’olwekyo, omwami oyo kyakulabirako kirungi eri abasajja Abakristaayo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina. Abakadde mu kibiina, nga mw’otwalidde n’abalabirizi abakyalira ebibiina, balina okukolera ku bulagirizi bw’omuddu omwesigwa. (Beb. 13:17) Abakadde mu kibiina bafuba okuyamba abantu ba Katonda okuwaayo ssaddaaka ez’okutendereza mu nkuŋŋaana ne mu mulimu gw’okubuulira. (Bef. 4:11, 12) Ate era abakadde basaanidde okujjukira nti Yakuwa yanenya abaami ba Isirayiri olw’okukozesa obubi obuyinza bwabwe. (Ezk. 45:9) Mu ngeri y’emu, abakadde tebasaanidde kulowooza nti bo tebeetaaga kuwabulwa oba kunenyezebwa. Mu kifo ky’ekyo, bagitwala nga nkizo Yakuwa okubatereeza basobole okubeera abasumba era abalabirizi abalungi.​—Soma 1 Peetero 5:1-3.

23 Mu nsi empya, Yakuwa ajja kweyongera okuteerawo abantu be abalabirizi abalungi. N’olwekyo tuyinza okugamba nti abakadde bangi leero batendekebwa basobole okuba abasumba abalungi mu nsi empya. (Zab. 45:16) Tekituzzaamu nnyo amaanyi bwe tufumiitiriza ku ngeri gye tujja okuganyulwa mu mirimu eginaakolebwa abasajja ng’abo mu nsi empya? Okufaananako obunnabbi obulala obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu, n’okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna tujja kweyongera okukutegeera mu kiseera kya Yakuwa ekituufu. Oboolyawo ebimu ku bintu ebyogerwako mu kwolesebwa okwo bijja kutuukirizibwa mu kiseera eky’omu maaso, era nga kati tetusobola kubitegeera. Ka tulindirire Yakuwa.

Emiryango emiwanvu ennyo n’empya bituyigiriza ki ku kusinza Yakuwa? (Laba akatundu 18-21)

Yakuwa Awa Abantu Be Emikisa

24, 25. Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kulaga kutya emikisa Yakuwa gye yandiwadde abantu be nga banyweredde ku kusinza okulongoofu?

24 Kati ka tulowooze ku kintu ekimu ekikulu ennyo ekyogerwako mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna. Yakuwa ajja mu yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa era n’asuubiza abantu be nti ajja kusigala omwo singa banywerera ku mitindo gye egy’okusinza okulongoofu. (Ezk. 43:4-9) Yakuwa okubeera mu yeekaalu kinaakola ki ku bantu be ne ku nsi yaabwe?

25 Okwolesebwa kulimu ebintu bibiri ebiraga emikisa abantu be gye bandifunye: (1) Omugga gukulukuta okuva mu yeekaalu ne guleeta obulamu mu nsi era ne gugigimusa; ne (2) ensi egabanyizibwamu bulungi, nga yeekaalu n’ekifo kyonna kw’eri biri mu makkati. Ebintu ebyo birina makulu ki gye tuli leero? Twetaaga okumanya amakulu gaabyo kubanga tuli mu kiseera nga Yakuwa yamala dda okujja mu yeekaalu ey’eby’omwoyo, n’agirongoosa, era n’akkiriza engeri gy’asinzibwamu mu yeekaalu eyo. (Mal. 3:1-4) Ebintu ebyo bijja kwogerwako mu Ssuula 19 okutuuka ku 21 ez’ekitabo kino.

a Wano, Yakuwa yali alaga enjawulo eyaliwo wakati w’engeri abantu be gye baatwalangamu ennyumba ye edda n’engeri gye baalina okugitwalamu kati. Yagamba nti: “Baateeka omulyango gwabwe okumpi n’omulyango gwange n’omwango gwabwe okumpi n’omwango gwange, nga kisenge kyokka kye kyawula nze nabo, ne bavvoola erinnya lyange ettukuvu nga bakola ebintu eby’omuzizo.” (Ezk. 43:8) Mu Yerusaalemi eky’edda, ennyumba ya Yakuwa n’amayumba g’abantu byali byawulwa bbugwe yekka. Bwe kityo abantu bwe baavanga ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, baaleetanga obutali bulongoofu n’okusinza ebifaananyi okumpi ddala n’ennyumba ya Yakuwa. Embeera eyo Yakuwa yali takyasobola kugigumiikiriza!

b Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna era kukwatagana n’obunnabbi obulala obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okw’amazima obutuukiriziddwa mu nnaku zino ez’enkomerero. Ng’ekyokulabirako, weetegereze okufaanagana okuliwo wakati wa Ezeekyeri 43:1-9 ne Malaki 3:1-5; Ezeekyeri 47:1-12 ne Yoweeri 3:18.

c Yeekaalu ey’eby’omwoyo yassibwawo mu 29 E.E., Yesu bwe yabatizibwa n’atandika okuweereza nga Kabona Asinga Obukulu. Naye oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, okusinza okulongoofu kwalagajjalirwa ku nsi okumala ebyasa bingi. Kyokka kati okusinza okw’amazima kwagulumizibwa, nnaddala okuva mu 1919.