Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 16

‘Teeka Akabonero ku Byenyi by’Abantu’

‘Teeka Akabonero ku Byenyi by’Abantu’

EZEEKYERI 9:4

OMULAMWA: Engeri abantu abeesigwa gye baateekebwako akabonero mu kiseera kya Ezeekyeri n’engeri ekyo gye kitukwatako leero

1-3. (a) Lwaki Ezeekyeri awuniikiridde, era kiki ky’amanya ku kuzikiriza okugenda okubaawo mu Yerusaalemi? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

 EZEEKYERI awuniikiridde! Yakuwa yaakamala okumulaga mu kwolesebwa ebintu eby’omuzizo Abayudaaya bakyewaggula bye bakolera mu yeekaalu mu Yerusaalemi. a Abajeemu abo boonoonye ekifo ekibadde entabiro ey’okusinza okulongoofu mu Isirayiri. Naye yeekaalu si ye yokka eyonooneddwa. Ensi ya Yuda yonna ejjudde ebikolwa eby’obukambwe era tekyayinza kutereera. Ebintu abantu abo bye bakola binyiiza nnyo Yakuwa era agamba Ezeekyeri nti: “Nja kubamalirako ekiruyi kyange.”​—Ezk. 8:17, 18.

2 Nga kiteekwa okuba nga kinakuwaza nnyo Ezeekyeri okukimanya nti Yerusaalemi awamu ne yeekaalu yaamu edda eyali entukuvu Yakuwa agenda kubizikiriza! Ezeekyeri ateekwa okuba nga yeebuuza: ‘Ate bo abantu abeesigwa abali mu Yerusaalemi? Banaawonawo? Bwe baba nga banaawonawo, banaawonawo batya?’ Ezeekyeri tekimwetaagisa kulindirira kiseera kiwanvu kufuna bya kuddamu mu bibuuzo ebyo. Oluvannyuma lw’okuwulira ekibonerezo Yakuwa ky’asalidde Yerusaalemi, Ezeekyeri awulira eddoboozi ery’omwanguka nga liyita abo Katonda b’agenda okukozesa okubonereza ekibuga. (Ezk. 9:1) Mu kwolesebwa okwo, Ezeekyeri akitegeera nti Katonda tagenda kumala gazikiriza buli omu era ekyo kimuleetera obuweerero. Akimanya nti abantu abeesigwa bajja kuwonawo!

3 Ng’enkomerero egenda esembera, naffe tuyinza okwebuuza nti: ‘Baani abanaawonawo mu kuzikiriza okugenda okujja?’ Ekyo okusobola okukimanya ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo bino: (1) Kiki Ezeekyeri ky’addako okulaba mu kwolesebwa okwo? (2) Okwolesebwa okwo kwatuukirizibwa kutya mu kiseera kye? (3) Okwolesebwa okwo kulina makulu ki gye tuli leero?

“Yita Abagenda Okubonereza Ekibuga”

4. Kiki Ezeekyeri kye yaddako okulaba n’okuwulira mu kwolesebwa?

4 Kiki Ezeekyeri kye yaddako okulaba n’okuwulira mu kwolesebwa? (Soma Ezeekyeri 9:1-11.) Yalaba abasajja musanvu “nga bava ku ludda oluliko omulyango ogw’eky’engulu ogutunudde ebukiikakkono,” oboolyawo okumpi n’awaali ekifaananyi ekikwasa obuggya, abakazi we baali bakaabirira katonda Tammuzi. (Ezk. 8:3, 14) Abasajja abo omusanvu baayingira mu luggya lwa yeekaalu olw’omunda ne bayimirira okumpi n’ekyoto eky’ekikomo. Naye abasajja abo baali tebazze kuwaayo ssaddaaka. Yakuwa yali takyasiima ssaddaaka ezaali ziweebwayo ku kyoto ekyo. Mukaaga ku basajja abo ‘buli omu yali akutte mu mukono gwe eky’okulwanyisa eky’okwasaayasa.’ Omusajja ow’omusanvu yali wa njawulo ku basajja abo omukaaga. Yali ayambadde ekyambalo ekya kitaani, era ye yali takutte kya kulwanyisa, wabula yalina “akacupa ka bwino ow’omuwandiisi.”

5, 6. Kiki kye tuyinza okwogera ku abo abaateekebwako akabonero? (Laba ekifaananyi ku lupapula 172.)

5 Omusajja eyalina akacupa ka bwino ow’omuwandiisi ye yali agenda kukola ki? Yakuwa yamugamba nti: “Genda oyiteeyite mu kibuga Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by’abantu abasinda era abakaaba olw’ebintu byonna eby’omuzizo ebikolebwa mu kibuga.” Oboolyawo mu kiseera ekyo Ezeekyeri yajjukira ekyo abazadde Abayisirayiri abeesigwa kye baakola bwe baasiiga omusaayi waggulu w’enzigi ne ku myango eruuyi n’eruuyi era ng’omusaayi ogwo kaali kabonero akalaga nti abaana baabwe ababereberye bandiwonyezeddwawo. (Kuv. 12:7, 22, 23) Kyandiba nti ne mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, abantu omusajja eyalina akacupa ka bwino be yanditaddeko akabonero nabo bandiwonyeewo nga Yerusaalemi kizikirizibwa?

6 Tusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo bwe tumanya ekyali kigenda okusinziirwako okuteeka akabonero ku bantu. Akabonero ako kaalina okuteekebwa ku byenyi by’abo abaali ‘basinda era abakaaba’ olw’ebintu byonna eby’omuzizo ebyali ‘bikolebwa mu kibuga.’ Ekyo kitulaga ki ku abo abaateekebwako akabonero? Abantu abo baali banyolwa olw’okusinza ebifaananyi okwali mu yeekaalu, ate era baali banyolwa olw’ebikolwa eby’obukambwe n’eby’obugwenyufu, n’obulyi bw’enguzi ebyali bijjudde mu Yerusaalemi. (Ezk. 22:9-12) Ate era kirabika abantu abo tebaakwekanga nneewulira gye baalina ku bintu ebyo. Ebigambo abantu abo ab’emitima emirungi bye baayogeranga awamu n’ebikolwa byabwe byalinga biraga nti bakyayira ddala ebintu ebibi ebyali bikolebwa era nti baali beemalidde ku kusinza okulongoofu. Olw’okuba Yakuwa musaasizi, yali agenda kuwonyaawo abantu abo.

7, 8. Abasajja abaali bakutte eby’okulwanyisa baali ba kukola batya omulimu gwabwe, era ebintu byaggweera wa?

7 Abasajja omukaaga abaalina eby’okulwanyisa baali ba kukola batya omulimu gwabwe? Ezeekyeri yawulira Yakuwa ng’abalagira okugoberera omusajja eyalina akacupa ka bwino batte buli muntu, okuggyako abo bokka abaali bateekeddwako akabonero ku byenyi. Yakuwa era yabagamba nti: “Mutandikire mu kifo kyange ekitukuvu.” (Ezk. 9:6) Abasajja abo baali bagenda kutandikira mu yeekaalu, kubanga yali tekyali ntukuvu mu maaso ga Yakuwa. Abo abaasooka okuttibwa be “bakadde abaali mu maaso ga yeekaalu,” nga bano be bakadde ba Isirayiri 70 abaali mu yeekaalu nga booterereza bakatonda ab’obulimba obubaani.​—Ezk. 8:11, 12; 9:6.

8 Ebintu byaggweera wa? Ezeekyeri yalaba era n’awulira ng’omusajja eyalina akacupa ka bwino agamba Yakuwa nti: “Nkoledde ddala nga bw’ondagidde.” (Ezk. 9:11) Kati ekyebuuzibwa kiri nti: ‘Abantu b’omu Yerusaalemi ebintu byabagendera bitya? Waliwo abantu abeesigwa abaawonawo?’

Okwolesebwa Okwo Kwatuukirizibwa Kutya mu Kiseera kya Ezeekyeri?

9, 10. Abamu ku bantu abeesigwa abaawonawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa be baluwa, era kiki kye tuyinza okuboogerako?

9 Soma 2 Ebyomumirembe 36:17-20. Obunnabbi bwa Ezeekyeri bwatuukirizibwa mu 607 E.E.T., eggye ly’Abababulooni bwe lyazikiriza Yerusaalemi ne yeekaalu yaamu. Abababulooni baali ‘ng’ekikopo mu mukono gwa Yakuwa,’ kubanga Yakuwa yabakozesa okubonereza ekibuga Yerusaalemi ekitaali kyesigwa, mu ngeri eyo ekibuga ekyo ne kiba ng’ekinywedde ku busungu bwa Yakuwa. (Yer. 51:7) Buli muntu eyali mu kibuga yazikirizibwa? Nedda. Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kwalaga nti abantu abamu bandibadde tebazikirizibwa Bababulooni.​—Lub. 18:22-33; 2 Peet. 2:9.

10 Waliwo abantu abeesigwa abaawonawo, nga mu bano mwe mwali Abalekabu, Ebedumereki Omwesiyopiya, nnabbi Yeremiya, ne Baluki omuwandiisi we. (Yer. 35:1-19; 39:15-18; 45:1-5) Okusinziira ku kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, tusobola okugamba nti abantu abo baali ‘basinda era nga bakaaba olw’ebintu byonna eby’omuzizo’ ebyali bikolebwa mu Yerusaalemi. (Ezk. 9:4) Okuzikiriza okwo bwe kwali tekunnabaawo, baali bakyolese nti bakyayira ddala ebintu ebibi era nti baali beemalidde ku kusinza okulongoofu ne kiba nti baali bajja kuwonawo.

11. Abasajja omukaaga abaali bakutte eby’okulwanyisa awamu n’omusajja eyalina akacupa ka bwino ow’omuwandiisi baali bakiikirira baani?

11 Abantu abo abeesigwa baateekebwako akabonero akalabika? Tewaliiwo kyonna kiraga nti Ezeekyeri oba nnabbi omulala omwesigwa yayitaayita mu Yerusaalemi ng’agenda ateeka akabonero ku byenyi by’abantu abeesigwa. N’olwekyo, okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kwali kulaga ekintu ekyali kikolebwa ebitonde eby’omwoyo, abantu kye baali batasobola kulaba. Mu kwolesebwa okwo, omusajja eyalina akacupa ka bwino awamu n’abasajja omukaaga abaali bakutte eby’okulwanyisa baali bakiikirira ebitonde bya Yakuwa eby’omwoyo ebyesigwa, bulijjo ebiba ebyetegefu okutuukiriza by’ayagala. (Zab. 103:20, 21) Kya lwatu nti Yakuwa yakozesa bamalayika be okukakasa nti omusango gwe yali asalidde Yerusaalemi gutuukirizibwa. Mu kukakasa nti abantu abeesigwa bawonyezebwawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa, bamalayika abo baali ng’abateeka akabonero ku byenyi by’abantu abo.

Okwolesebwa Ezeekyeri Kwe Yafuna Kutukwatako Kutya Leero?

12, 13. (a) Lwaki Yakuwa yamalira ekiruyi kye ku Yerusaalemi, era lwaki tusuubira nti ekintu ekifaananako ng’ekyo kigenda kubaawo mu kiseera kyaffe? (b) Yerusaalemi ekitaali kyesigwa kikiikirira Kristendomu? Nnyonnyola. (Laba Akasanduuko “Yerusaalemi Kyali Kikiikirira Kristendomu?”)

12 Ne leero waliwo omusango Yakuwa gw’asaze ogunaatera okutuukirizibwa, nga kino kye ‘kibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kasookedde ensi ebaawo, era tekiribaawo nate.’ (Mat. 24:21) Nga bwe tulindirira ekintu ekyo ekikulu ennyo, tuyinza okwebuuza ebibuuzo nga bino: Yakuwa anaamala gazikiriza buli muntu yenna? Kyandiba nti waliwo engeri abaweereza ba Yakuwa ab’amazima gye bajja okussibwako akabonero basobole okuwonawo? Mu ngeri endala, okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku musajja alina akacupa ka bwino kunaatuukirizibwa ne mu kiseera kyaffe? Eky’okuddamu mu bibuuzo ebyo ebisatu kiri nti yee. Lwaki tugamba bwe tutyo? Okusobola okumanya ensonga lwaki tugamba bwe tutyo, ka tuddemu twetegereze okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna.

13 Ojjukira ensonga lwaki Yakuwa yamalira ekiruyi kye ku Yerusaalemi eky’edda? Ddamu weetegereze Ezeekyeri 9:8, 9. (Soma.) Ezeekyeri bwe yatya nti ‘Abayisirayiri bonna abaali abasigaddewo’ baali bagenda kusaanyizibwawo mu kuzikiriza okwali kugenda okujja, Yakuwa yalaga ensonga nnya lwaki yali agenda kuleeta okuzikiriza okwo. Esooka, “ensobi” y’eggwanga eryo yali “nnene nnyo.” b Ey’okubiri, ensi ya Yuda yali “ejjudde okuyiwa omusaayi.” Ey’okusatu, Yerusaalemi, ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwa Yuda, kyali “kijjudde obulyi bw’enguzi.” Ey’okuna, abantu baali bakola ebintu ebibi nga bagamba nti Yakuwa yali “talaba” bikolwa byabwe ebibi. Ebyo si bye bintu byennyini ebiri mu nsi ya Sitaani eno? Okuva bwe kiri nti Yakuwa “takyukakyuka,” ebintu ebyamuleetera okumalira ku Yerusaalemi ekiruyi kye, era bye bigenda okumuleetera okumalira ekiruyi kye ku nsi eno embi. (Yak. 1:17; Mal. 3:6) N’olwekyo abasajja omukaaga abakutte eby’okulwanyisa eby’okwasaayasa n’omusajja alina akacupa ka bwino balina omulimu gwe bagenda okukola mu kiseera kyaffe!

Abasajja omukaaga abakutte eby’okulwanyisa eby’okwasaayasa banaatera okukola omulimu gwabwe (Laba akatundu 12, 13)

14, 15. Byakulabirako ki ebiraga nti Yakuwa asooka kulabula bantu nga tannaleeta kuzikiriza?

14 Naye okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kutuukirizibwa kutya mu kiseera kyaffe? Bwe tulowooza ku ngeri okwolesebwa okwo gye kwatuukirizibwamu mu biseera eby’edda, kituyamba okumanya bye tusaanidde okusuubira mu kiseera kino ne mu kiseera eky’omu maaso. Lowooza ku bintu ebimu bye tulabye n’ebyo bye tujja okulaba ebituukiriza obunnabbi bwa Ezeekyeri.

15 Yakuwa asooka kulabula bantu nga tannaleeta kuzikiriza. Nga bwe twalaba mu Ssuula 11 ey’ekitabo kino, Yakuwa yakwasa Ezeekyeri obuvunaanyizibwa obw’okukola ‘ng’omukuumi eri ennyumba ya Isirayiri.’ (Ezk. 3:17-19) Okuva mu 613 E.E.T., Ezeekyeri yalabula Abayisirayiri ku kuzikiriza okwali kugenda okujja. Ne bannabbi abalala gamba nga Isaaya ne Yeremiya, baalabula abantu ku kabi akaali kagenda okutuuka ku Yerusaalemi. (Is. 39:6, 7; Yer. 25:8, 9, 11) Mu kiseera kyaffe, Yakuwa, ng’ayitira mu Kristo, akozesezza abaweereza be abaafukibwako amafuta abatonotono okuliisa abaweereza be oba ab’omu nju, n’okulabula abantu ku kibonyoobonyo ekinene ekijja.​—Mat. 24:45.

16. Ffe abantu ba Yakuwa ffe tussa akabonero ku bantu abagenda okuwonawo? Nnyonnyola.

16 Abantu ba Yakuwa si be bassa akabonero ku bantu abanaawonawo. Kijjukire nti Ezeekyeri teyagambibwa kuyitaayita mu Yerusaalemi asse akabonero ku bantu abanaawonawo. Mu ngeri y’emu leero, abantu ba Yakuwa tebakwasiddwa buvunaanyizibwa bwa kussa kabonero ku bantu abanaawonawo. Naye, ffe ng’ab’omu nju ya Kristo ey’eby’omwoyo, tukwasiddwa omulimu ogw’okubuulira. Tukiraga nti omulimu ogwo tugutwala nga mukulu nga tubuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda era nga tulabula abantu nti ensi ya Sitaani eneetera okuzikirizibwa. (Mat. 24:14; 28:18-20) Mu kukola bwe tutyo, tuyamba abantu ab’emitima emirungi okwegatta ku kusinza okulongoofu.​—1 Tim. 4:16.

17. Kiki abantu kinnoomu kye balina okukola kati okusobola okuteekebwako akabonero mu kiseera eky’omu maaso?

17 Okusobola okuwonawo mu kuzikiriza okugenda okujja, abantu kinnoomu balina okukyoleka kati nti beesigwa eri Katonda. Nga bwe twalabye, abo abaawonawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa mu 607 E.E.T., baali baakyoleka dda nti bakyawa ebintu ebibi ebyali bikolebwa era nti beemalidde ku kusinza okulongoofu. Bwe kityo bwe kiri ne leero. Ng’okuzikiriza tekunnajja, abantu abanaawonawo balina okuba nga ‘basinda era nga bakaaba,’ kwe kugamba, nga banyolwa ku mutima olw’ebintu ebibi ebikolebwa mu nsi ya Sitaani. Ate era mu kifo ky’okukweka enneewulira zaabwe, balina okukyoleka mu bigambo ne mu bikolwa nti beemalidde ku kusinza okulongoofu. Ekyo bayinza kukikola batya? Balina okussaayo omwoyo ku mawulire amalungi agabuulirwa leero, okwongera okukulaakulanya engeri ng’eza Kristo, okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa, n’okweyongera okuwagira baganda ba Kristo. (Ezk. 9:4; Mat. 25:34-40; Bef. 4:22-24; 1 Peet. 3:21) Abo bokka abakola ebintu ebyo kati era abajja okusangibwa nga basinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima ekibonyoobonyo ekinene we kinaatandikira, be bajja okussibwako akabonero bawonewo.

18. (a) Yesu aliteeka atya akabonero ku bantu abeesigwa era ekyo alikikola ddi? (b) Abaafukibwako amafuta abeesigwa nabo beetaaga okuteekebwako akabonero? Nnyonnyola.

18 Yesu ajja kuteeka akabonero ku abo abagwana okuwonyezebwawo. Mu kiseera kya Ezeekyeri Yakuwa yakozesa bamalayika okuteeka akabonero ku bantu abeesigwa abandiwonyeewo. Mu kiseera kyaffe, omusajja alina akacupa ka bwino ow’omuwandiisi akiikirira Yesu Kristo, ng’azze “mu kitiibwa kye” okulamula amawanga gonna. (Mat. 25:31-33) Yesu ajja kujja mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, ng’amadiini ag’obulimba gamaze okuzikirizibwa. c Mu kiseera ekyo ekikulu ennyo, nga Amagedoni anaatera okutandika, Yesu ajja kulamula abantu, akirage baani ndiga ate baani mbuzi. ‘Ab’ekibiina ekinene’ bajja kulamulwa, oba kussibwako akabonero, nti ndiga, ekinaalaga nti bajja kufuna ‘obulamu obutaggwaawo.’ (Kub. 7:9-14; Mat. 25:34-40, 46) Ate bo abaafukibwako amafuta? Bo tebeetaaga kuteekebwako kabonero kuwonawo ku Amagedoni. Naye bateekebwako akabonero akasembayo, nga tebannafa oba ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okutandika. Era awo nga Amagedoni anaatera okutandika bajja kutwalibwa mu ggulu.​—Kub. 7:1-3.

19. Yesu aliba na baani ng’azikiriza enteekateeka y’ebintu eno embi? (Laba akasanduuko “Okusinda n’Okukaaba, Okussa Akabonero, Okwasaayasa​—Bibaawo Ddi era Bitya?”)

19 Kabaka ow’omu ggulu, Yesu Kristo, n’eggye lye ery’omu ggulu bajja kuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno embi. Mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, omusajja eyalina akacupa ka bwino yasooka kumaliriza kuteeka kabonero ku bantu, olwo abasajja omukaaga abaali bakutte eby’okulwanyisa eby’okwasaayasa ne balyoka batandika okuzikiriza. (Ezk. 9:4-7) Mu ngeri y’emu, okuzikiriza okwo okugenda okujja, kwa kutandika nga Yesu amaze okulamula abantu b’amawanga gonna era ng’amaze okuteeka akabonero ku abo abalinga endiga bawonewo. Mu lutalo Amagedoni, Yesu ajja kukulemberamu eggye ery’omu ggulu, erijja okubaamu bamalayika abatukuvu awamu ne banne 144,000, lizikirize ensi eno embi, era liwonyeewo abantu ba Yakuwa abeesigwa bayingire mu nsi empya.​—Kub. 16:14-16; 19:11-21.

20. Biki bye tuyize mu kwolesebwa okukwata ku musajja eyalina akacupa ka bwino ow’omuwandiisi ebituzzaamu ennyo amaanyi?

20 Ebyo bye tuyize mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku musajja eyalina akacupa ka bwino ow’omuwandiisi bituzzaamu nnyo amaanyi. Tuli bakakafu nti Yakuwa tajja kuzikiriza batuukirivu bw’anaaba azikiriza ababi. (Zab. 97:10) Tumanyi kye tusaanidde okukola kati tusobole okuteekebwako akabonero mu kiseera eky’omu maaso tuwonewo. Abaweereza ba Yakuwa tuli bamalirivu okulangirira amawulire amalungi n’okulabula abo abasinda era abakaaba olw’ebintu ebibi ebikolebwa mu nsi ya Sitaani. Tulina enkizo ey’okuyamba abo ‘abalina endowooza ennuŋŋamu’ okutwegattako mu kusinza okulongoofu basobole okuteekebwako akabonero mu kiseera eky’omu maaso, bawonewo era bayingire mu nsi empya.​—Bik. 13:48.

a Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku bintu eby’omuzizo ebikolebwa mu yeekaalu kwogerwako mu Ssuula 5 ey’ekitabo kino.

b Okusinziira ku kitabo ekimu, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “ensobi” kitegeeza “ekikolwa eky’obugwagwa.” Ekitabo ekirala kigamba nti ekigambo ekyo “kitera kukwataganyizibwa na bya ddiini, era ng’okusingira ddala kikozesebwa ku bikolwa ebitakkirizibwa mu maaso ga Katonda oba Katonda by’akyawa.”

c Babulooni Ekinene bwe kinaazikirizibwa, kirabika abamu ku bantu abali mu madiini ago ag’obulimba bajja kusigalawo. Mu kiseera ekyo n’abakulu b’amadiini abamu bayinza okwegaana amadiini gaabwe ne beefuula ng’abatagabeerangamuko.​—Zek. 13:3-6.