Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Mu Bufunze, Enkyukakyuka Ezikoleddwa

Mu Bufunze, Enkyukakyuka Ezikoleddwa

Emyaka bwe gizze giyitawo, Omunaala gw’Omukuumi guzze gulaga enkyukakyuka ezikoleddwa mu ngeri gye tutegeeramu ebintu ebitali bimu ebiri mu bunnabbi bwa Ezeekyeri. Ekitabo kino, Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!, nakyo kirimu enkyukakyuka endala ezikoleddwa. Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino.

Obwenyi obuna obw’ebiramu bukiikirira ki?

Engeri gye twali tukitegeeramu edda: Obwenyi bwa buli kimu ku biramu ebina bulina emu ku ngeri za Yakuwa ennya enkulu gye bukiikirira.

Enkyukakyuka: Wadde ng’obwenyi bwa buli kimu ku biramu ebina bulina emu ku ngeri za Yakuwa enkulu ennya gye bukiikirira, obwenyi obwo obuna bwonna awamu bukiikirira engeri zonna Yakuwa z’alina. Ate era obwenyi obwo obuna butuleetera okukiraba nti Yakuwa asukkulumye mu buyinza n’ekitiibwa.

Ensonga lwaki enkyukakyuka ekoleddwa: Mu Kigambo kya Katonda, nnamba nnya etera okukozesebwa okukiikirira obulambalamba bw’ekintu oba obujjuvu bwakyo. N’olwekyo, obwenyi obwo obuna bwonna awamu bukiikirira engeri ezisukka mu nnya; bukiikirira engeri za Yakuwa zonna. Obwenyi obwo obuna bwa bitonde ebirina ekitiibwa n’obuyinza. Wadde kiri kityo, ebitonde ebyo ebina ebikiikiriddwa obwenyi obw’emirundi ena buli kerubi bw’alina, biri wansi w’entebe ya Yakuwa. Ekyo kiraga nti Yakuwa ye Mufuzi ow’Oku Ntikko.

Omusajja alina akacupa ka bwino w’omuwandiisi akiikirira ani?

Engeri gye twali tukitegeeramu edda: Omusajja alina akacupa ka bwino akiikirira ensigalira y’abaafukibwako amafuta. Okuyitira mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa, abaafukibwako amafuta kati bassa akabonero ku byenyi by’abo abeegatta ku ‘kibiina ekinene.’​—Kub. 7:9.

Enkyukakyuka: Omusajja alina akacupa ka bwino ow’omuwandiisi akiikirira Yesu Kristo. Ajja kuteeka akabonero ku b’ekibiina ekinene okulaga nti ndiga bw’anaabalamula mu ‘kibonyoobonyo ekinene.’​—Mat. 24:21.

Ensonga lwaki enkyukakyuka ekoleddwa: Obuvunaanyizibwa obw’okulamula, Yakuwa yabukwasa Mwana we. (Yok. 5:22, 23) Okusinziira ku Matayo 25:31-33, Yesu y’ajja okulamula abantu akirage baani ‘ndiga’ ate baani ‘mbuzi.’

Ab’oluganda ababiri, Okola ne Okoliba, baali bakiikirira ebiwayi bya Kristendomu, eky’Abakatuliki n’eky’Abapolotesitante?

Engeri gye twali tukitegeeramu edda: Okola (Samaliya, ekibuga ekikulu ekya Isirayiri), mukulu wa Okoliba, akiikirira Abakatuliki; Okoliba (Yerusaalemi, ekibuga ekikulu ekya Yuda), muto wa Okola, akiikirira Abapolotesitante.

Enkyukakyuka: Ab’oluganda abo ababiri bamalaaya tebalina kitundu kya Kristendomu kyonna kye baali bakiikirira. Wabula bye tubasomako bituyamba okulaba engeri Yakuwa gy’awuliramu abantu be bwe benda mu by’omwoyo. Era bituyamba okumanya engeri gy’atwalamu amadiini gonna ag’obulimba.

Ensonga lwaki enkyukakyuka ekoleddwa: Tewali kintu kyonna mu Byawandiikibwa kiraga nti Okola ne Okoliba bakiikirira Kristendomu. Isirayiri ne Yuda mu kusooka baali nga bakyala ba Yakuwa abeesigwa, naye Kristendomu tebeerangako na nkolagana ng’eyo na Yakuwa. Essuula eya 16 ne 23 ez’omu kitabo kya Ezeekyeri ezigeraageranya abantu ba Yakuwa abataali beesigwa ku bamalaaya, ziraga nti waaliwo essuubi nti bandikyusizza amakubo gaabwe. Naye tewali ssuubi lyonna nti Kristendomu, eri mu Babulooni Ekinene, ejja kukyusa amakubo gaayo.

Yerusaalemi eky’edda bwe kyewaggula kyali kikiikirira Kristendomu?

Engeri gye twali tukitegeeramu edda: Yerusaalemi ekitaali kyesigwa kyali kikiikirira Kristendomu. N’olwekyo, okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi kwali kusonga ku kuzikirizibwa kwa Kristendomu.

Enkyukakyuka: Ebintu ebibi, gamba ng’okusinza ebifaananyi n’ebikolwa ebirala ebibi, ebyali mu Yerusaalemi ekitaali kyesigwa bitujjukiza ebintu ebibi ebikolebwa mu Kristendomu. Naye tetukyagamba nti Yerusaalemi ekitaali kyesigwa kyali kikiikirira Kristendomu.

Ensonga lwaki enkyukakyuka ekoleddwa: Tewali we tuyinza kusinziira mu Byawandiikibwa kugamba nti Yerusaalemi ekitaali kyesigwa kyali kikiikirira Kristendomu. Obutafaananako Yerusaalemi eky’edda, Kristendomu tesinzangako Yakuwa mu ngeri gy’asiima. Ate era Yakuwa yasonyiwako Yerusaalemi eky’edda, naye tewali ssuubi lyonna nti Kristendomu ejja kusonyiyibwa.

Obunnabbi obukwata ku lusenyi olujjudde amagumba amakalu bwatuukirira butya?

Engeri gye twali tukitegeeramu edda: Mu 1918 abaafukibwako amafuta abaali bayigganyizibwa baatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene ne baba ng’abafudde. Obuwambe obwo bwakoma mu 1919 Yakuwa bwe yabawa obulamu nate ne baddamu okukola omulimu ogw’okulangirira Obwakabaka.

Enkyukakyuka: Embeera eyo abantu ba Katonda gye baalimu nga bawambiddwa mu by’omwoyo nga balinga abafudde yamala ekiseera kiwanvu nnyo era yatandika emyaka mingi nnyo emabega ng’omwaka gwa 1918 tegunnatuuka. Yatandika mu kyasa eky’okubiri E.E. n’ekoma mu 1919 E.E. era ekiseera ekyo kikwatagana n’ekiseera ekiwanvu Yesu kye yayogerako mu lugero lw’eŋŋaano n’omuddo.

Ensonga lwaki enkyukakyuka ekoleddwa: Abayisirayiri baamala ekiseera kiwanvu mu buwambe, okuva mu mwaka gwa 740 E.E.T. okutuuka mu 537 E.E.T. Obunnabbi bwa Ezeekyeri bulaga nti amagumba ago gaali “makalu” oba “makalu nnyo,” ekiraga nti abo abakiikirirwa amagumba ago baali bamaze ekiseera kiwanvu nnyo nga bafudde. Ate era obunnabbi bulaga nti amagumba ago gaagenda gaweebwa obulamu mpolampola, era nga kino kyatwala ekiseera.

Okugatta awamu emiggo ebiri kirina makulu ki?

Engeri gye twali tukitegeeramu edda: Oluvannyuma lw’obumu bwabwe okugootaanamu okumala ekiseera kitono mu kiseera kya Ssematalo I, abaafukibwako amafuta abeesigwa baddamu okuba obumu mu 1919.

Enkyukakyuka: Obunnabbi obwo bulaga nti Yakuwa yandireetedde abaweereza be okuba obumu. Oluvannyuma lwa 1919, ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, abaafukibwako amafuta baagenda beegattibwako abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. Abaafukibwako amafuta n’abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi baweerereza wamu Yakuwa nga bali bumu.

Ensonga lwaki enkyukakyuka ekoleddwa: Obunnabbi obwo tebulaga nti omuggo gumu gwabejjulwamu ebitundu bibiri ate oluvannyuma ne bigattibwa wamu ne bifuuka omuggo gumu. N’olwekyo, obunnabbi obwo tebulaga nti wandibaddewo ekibinja ekyawulwamu ebitundu bibiri ate oluvannyuma ne bigattibwa wamu. Mu kifo ky’ekyo, bulaga nti ebibinja bibiri byandibadde bigattibwa wamu ne biba bumu.

Googi ow’e Magoogi y’ani?

Engeri gye twali tukitegeeramu edda: Googi ow’e Magoogi linnya lya bunnabbi eryaweebwa Sitaani oluvannyuma lw’okugobwa mu ggulu.

Enkyukakyuka: Googi ow’e Magoogi ge mawanga agajja okwegatta awamu okulwanyisa abaweereza ba Yakuwa mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene.

Ensonga lwaki enkyukakyuka ekoleddwa: Okuba nti obunnabbi bugamba nti Googi ajja kuweebwayo aliibwe ebinyonyi ebirya ennyama era nti ajja kuweebwa ekifo eky’okuziikibwamu ku nsi kiraga nti Googi si kitonde kya mwoyo. Ate era obulumbaganyi bwa Googi bufaanagana n’obulumbaganyi obwogerwako mu kitabo kya Danyeri n’eky’Okubikkulirwa, amawanga g’ensi bwe gagenda okukola ku bantu ba Katonda.​—Dan. 11:40, 44, 45; Kub. 17:14; 19:19.

Yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba era n’alambula y’emu ne yeekaalu ey’eby’omwoyo omutume Pawulo gye yayogerako?

Engeri gye twali tukitegeeramu edda: Yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa y’emu ne yeekaalu ey’eby’omwoyo omutume Pawulo gye yayogerako.

Enkyukakyuka: Ezeekyeri teyalaba yeekaalu ey’eby’omwoyo eyatandikawo mu 29 E.E., naye yafuna okwolesebwa okulaga engeri okusinza okulongoofu okwali kwalagirwa mu Mateeka ga Musa gye kwandiziddwawo oluvannyuma lw’abantu ba Katonda okuva mu buwaŋŋanguse. Pawulo bwe yali annyonnyola ebikwata ku yeekaalu ey’eby’omwoyo, essira yalissa ku mulimu Yesu, Kabona Asinga Obukulu, gwe yakola okuva mu 29 E.E. okutuuka mu 33 E.E. Naye mu yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa, kabona asinga obukulu tayogerwako, era essira lissibwa ku kuzzibwawo mu by’omwoyo okwatandika mu 1919 E.E. N’olwekyo tetukyagamba nti ebintu byonna n’ebipimo ebyogerwako mu yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa birina kye bikiikirira. Mu kifo ky’ekyo, essira tulissa ku ebyo okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna bye kutuyigiriza ku mitindo gya Yakuwa egy’okusinza okulongoofu.

Ensonga lwaki enkyukakyuka ekoleddwa: Yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa eyawukana ku yeekaalu ey’eby’omwoyo mu ngeri nnyingi. Ng’ekyokulabirako, mu yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba, ssaddaaka z’ensolo nnyingi ziweebwayo; naye ate mu yeekaalu ey’eby’omwoyo, ssaddaaka emu yokka y’eweebwayo, “omulundi gumu.” (Beb. 9:11, 12) Mu kiseera ekyo ng’ebula ebyasa bingi Yesu ajje, ekiseera kya Yakuwa eky’okubikkula amazima agakwata ku yeekaalu ey’eby’omwoyo kyali tekinnatuuka.