Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 21

“Erinnya ly’Ekibuga Ekyo Linaabanga, Yakuwa Ali Omwo”

“Erinnya ly’Ekibuga Ekyo Linaabanga, Yakuwa Ali Omwo”

EZEEKYERI 48:35

OMULAMWA: Amakulu g’ekibuga n’ekitundu ekyaweebwayo

1, 2. (a) Kitundu ki eky’ensi ekirina okwawulibwawo? (Laba ekifaananyi ku ddiba.) (b) Okwolesebwa okwo kuzzaamu kutya abo abali mu buwaŋŋanguse amaanyi?

 MU KWOLESEBWA Ezeekyeri kw’asembayo okufuna, ategeezebwa ku kitundu ky’ensi ekirina okwawulibwawo okukozesebwa mu ngeri ey’enjawulo. Ekitundu ekyawulibwawo, tekiweebwa kika kya Isirayiri kyonna, wabula kiweebwayo eri Yakuwa. Ezeekyeri era ategeezebwa ne ku kibuga ekirina erinnya eryewuunyisa. Okwolesebwa kuno kuzzaamu nnyo abo abali mu buwaŋŋanguse amaanyi kubanga kulaga nti Yakuwa ajja kuba nabo nga bazzeeyo mu nsi yaabwe gye baagala ennyo.

2 Ezeekyeri atubuulira ebintu bingi ebikwata ku kitundu ekyo ekiweebwayo. Ka twekenneenye ebikwata ku kitundu ekyo, kubanga waliwo bingi bye tusobola okukiyigirako.

‘Ekitundu Ekitukuvu Awamu n’Ekibuga’

3. Bitundu ki ebitaano ebyali bikola ekitundu ekyaweebwayo eri Yakuwa, era ebitundu ebyo byakozesebwa bitya? (Laba akasanduuko “Ekitundu Kye Munaayawulawo.”)

3 Ekitundu ky’ensi ekyayawulibwawo okukozesebwa mu ngeri ey’enjawulo kyali emikono 25,000 (mayiro munaana) okuva ebukiikakkono okutuuka ebukiikaddyo, n’emikono 25,000 okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Ekitundu ekyo ekyali kyenkanankana ku njuyi zonna kyali kiyitibwa “ekitundu kyonna.” Kyagabanyizibwamu ebitundu bisatu. Ekitundu ekisooka waggulu kyali kya Baleevi, ate ekitundu eky’omu makkati kyali kya yeekaalu ne bakabona. Ebitundu ebyo ebibiri byali biyitibwa “ekitundu ekitukuvu.” Ekitundu ekyali kisingayo obutono ekyali kisembayo wansi oba “ekitundu ekisigaddewo,” kyali kya “kukozesebwa abantu b’omu kibuga.” Kyali kya kibuga.​—Ezk. 48:15, 20.

4. Kiki kye tuyigira ku kitundu ekyaweebwayo eri Yakuwa?

4 Kiki kye tuyigira ku kitundu ekyaweebwayo eri Yakuwa? Okuba nti ekitundu ekyo kyasooka kwawulibwawo oluvannyuma ebika bya Isirayiri ne biryoka biweebwa ebitundu byabyo, Yakuwa yalaga nti ekitundu ekyo ekyali kigenda okukolerwamu ebintu eby’omwoyo kye kyalina okutwalibwa ng’ekisinga obukulu mu nsi. Abo abaali mu buwaŋŋanguse baayiga bingi ku ngeri ensi gye yagabanyizibwamu. Baakiraba nti okuweereza Yakuwa kye baalina okukulembeza mu bulamu bwabwe. Ne leero ebintu eby’omwoyo, gamba ng’okusoma Bayibuli, okubeerawo mu nkuŋŋaana, n’okubuulira amawulire amalungi, bye tukulembeza mu bulamu bwaffe. Yakuwa akiraga kaati nti okumusinza kye tulina okukulembeza mu bulamu bwaffe.

“Ekibuga Kijja Kuba Wakati mu Kitundu Ekyo”

5, 6. (a) Ekibuga kyali kya baani? (b) Kiki ekibuga ekyo kye kitaali, era lwaki?

5 Soma Ezeekyeri 48:15. “Ekibuga” n’ettaka eryali likyetoolodde byalina makulu ki? (Ezk. 48:16-18) Mu kwolesebwa, Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: “Ekibuga . . . kijja kuba kya nnyumba ya Isirayiri yonna.” (Ezk. 45:6, 7) N’olwekyo, ekibuga n’ettaka eryali likyetoolodde tebyali ku kitundu ‘ekyayawulibwawo okuba ekya Yakuwa.’ (Ezk. 48:9) Nga tulina ekyo mu birowoozo, ka tulabe ebyo bye tuyigira ku nteekateeka y’ekibuga ekyo.

6 Okusobola okulaba ebyo bye tuyigira ku kibuga ekyo, ka tusooke tumanye ekibuga ekyo kye kitaali. Tekiyinza kuba nga kyali Yerusaalemi ekyaddamu okuzimbibwa awamu ne yeekaalu yaakyo. Lwaki? Kubanga ekibuga Ezeekyeri kye yalaba mu kwolesebwa tekyalimu yeekaalu. Ate era ekibuga ekyo tekyali kimu ku bibuga ebyali mu nsi ya Isirayiri eyazzibwawo. Lwaki? Kubanga tewali kibuga abo abaakomawo mu buwaŋŋanguse oba bazzukulu baabwe kye baazimba ekifaanana ng’ekyo Ezeekyeri kye yalaba mu kwolesebwa. Ate era ekibuga ekyo tekisobola kuba nga kyali kya mu ggulu. Lwaki? Kubanga ekibuga ekyo kyazimbibwa ku ttaka erya “bulijjo.” Ettaka erya bulijjo lyali lya njawulo ku ttaka eryayawulibwawo okukozesebwa mu kusinza.​—Ezk. 42:20.

7. Kibuga ki Ezeekyeri kye yalaba, era kiyinza okuba nga kikiikirira ki? (Laba ekifaananyi ku lupapula 218.)

7 Kati olwo ekibuga Ezeekyeri kye yalaba kye ki? Kijjukire nti Ezeekyeri yalaba ekibuga ekyo mu kwolesebwa kwe kumu mwe yalabira ensi. (Ezk. 40:2; 45:1, 6) Ekigambo kya Katonda kiraga nti ensi eyo gye yalaba ya bya mwoyo, n’olwekyo ekibuga nakyo kiteekwa okuba nga kya bya mwoyo. Okutwalira awamu, ekigambo “ekibuga” kirina makulu ki? Ekigambo ekibuga kituleetera okulowooza ku bantu ababeera awamu mu kitundu ekimu era abategekeddwa obulungi. N’olwekyo ekibuga ekitegekeddwa obulungi Ezeekyeri kye yalaba, ekyali kyenkanankana ku njuyi zonna, kiyinza okuba nga kikiikirira enteekateeka ennungi ey’okuddukanya emirimu, kwe kugamba, enteekateeka ey’obukulembeze.

8. Enteekateeka ey’obukulembeze eddukanyiza wa emirimu gyayo, era lwaki tugamba tutyo?

8 Enteekateeka eyo ey’obukulembeze eddukanyiza wa emirimu gyayo? Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kulaga nti ekibuga ekyo kiri mu nsi ey’eby’omwoyo. N’olwekyo enteekateeka eyo ey’obukulembeze eddukanyiza emirimu gyayo mu bantu ba Katonda, kwe kugamba, erabirira emirimu egikolebwa abantu ba Katonda. Ate okuba nti ekibuga ekyo kiri ku ttaka erya bulijjo kiraga ki? Kiraga nti ekibuga ekyo tekikiikirira nteekateeka ey’obukulembeze eri mu ggulu wabula enteekateeka ey’obukulembeze eri ku nsi, era ng’emirimu gy’ekola giganyula abo bonna abali mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo.

9. (a) Baani abali mu nteekateeka ey’obukulembeze eri ku nsi? (b) Kiki Yesu ky’anaakola mu kiseera ky’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi?

9 Baani abali mu nteekateeka eyo ey’obukulembeze eri ku nsi? Mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, oyo eyali akulembera ekibuga yali ayitibwa ‘mwami.’ (Ezk. 45:7) Omwami oyo yali mulabirizi mu bantu ba Katonda, naye teyali kabona era teyali Muleevi. Omwami oyo okusingira ddala atuleetera okulowooza ku bakadde mu kibiina abatali bamu ku abo abaafukibwako amafuta. Abasumba abo abava mu ‘b’endiga endala’ baweerereza ku nsi wansi wa gavumenti ya Kristo eri ggulu. (Yok. 10:16) Mu kiseera ky’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, Yesu ajja kubaako abakadde b’alonda abajja okuweereza ‘ng’abaami mu nsi yonna.’ (Zab. 45:16) Nga bakolera ku bulagirizi obunaabaweebwa Obwakabaka obw’omu ggulu, bajja kusobola okukola obulungi ku nsonga z’abantu ba Katonda mu myaka Olukumi.

“Yakuwa Ali Omwo”

10. Ekibuga ekyo kiyitibwa kitya, era ekyo kizzaamu kitya abantu ba Katonda amaanyi?

10 Soma Ezeekyeri 48:35. Ekibuga ekyo kiyitibwa “Yakuwa Ali Omwo.” Erinnya eryo liraga nti abo abakirimu bawulira nti Yakuwa ali nabo. Yakuwa okulaga Ezeekyeri ekibuga ekyo ekyali wakati, yalinga agamba abo abaali mu buwaŋŋanguse nti: ‘Nja kuddamu okuba nammwe!’ Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyabazzaamu nnyo amaanyi!

11. Biki bye tuyigira ku kwolesebwa okukwata ku kibuga n’erinnya lyakyo?

11 Biki bye tuyigira ku kwolesebwa okwo okukwata ku kibuga? Erinnya ly’ekibuga ekyo litukakasa nti Yakuwa ali wamu n’abaweereza be abeesigwa abali ku nsi era ajja kubeeranga nabo. Erinnya eryo era lituyigiriza ekintu ekirala ekikulu: Ekibuga tekiteekeddwawo okusobola okuwa omuntu yenna obuyinza, wabula kiteekeddwawo okukakasa nti ebintu bikolebwa mu ngeri ey’okwagala era ey’amagezi nga Yakuwa bw’ayagala. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa tawadde abo abali mu nteekateeka eyo ey’obukulembeze buyinza kugabanyaamu nsi nga basinziira ku ndaba yaabwe ey’obuntu. Wabula Yakuwa abasuubira okuwa abaweereza be bonna, nga mw’otwalidde ‘n’abanaku,’ emigabo oba enkizo z’abawadde.​—Nge. 19:17; Ezk. 46:18; 48:29.

12. (a) Kintu ki ekirala ekyewuunyisa ekiri ku kibuga ekyo, era kiraga ki? (b) Abakadde mu kibiina bayigira ki ku miryango gy’ekibuga?

12 Kintu ki ekirala ekyewuunyisa ekiri ku kibuga “Yakuwa Ali Omwo”? Wadde ng’ebibuga eby’edda byabangako bbugwe n’emiryango mitono ddala, ekibuga kino kirina emiryango 12! (Ezk. 48:30-34) Okuba nti ekibuga ekyo kiriko emiryango mingi (esatu ku buli luuyi) kiraga nti abo abali mu bifo eby’obukulembeze mu kibuga ekyo batuukirikika era bulijjo baba beetegefu okuyamba abantu ba Katonda. Ate era okuba nti ekibuga kirina emiryango 12 kiraga nti kigguliddwawo eri buli muntu, eri ‘ennyumba ya Isirayiri yonna.’ (Ezk. 45:6) Okuba nti ekibuga ekyo kyangu okukiyingira kirina ekintu ekikulu kye kiyigiriza abakadde mu kibiina. Yakuwa ayagala babeere nga batuukirikika era nga beetegefu okuyamba abo bonna abali mu lusuku lwe olw’eby’omwoyo.

Abakadde mu kibiina batuukirikika era bulijjo baba beetegefu okuyamba abalala (Laba akatundu 12)

Abantu ba Katonda ‘Bayingira mu Kibuga Okusinza’ era ‘Bakola Emirimu gy’Ekibuga’

13. Kiki Yakuwa kye yayogera ku mirimu egy’enjawulo abantu gye bandikoze?

13 Ka twetegereze ebintu ebirala Ezeekyeri bye yawandiika ku kwolesebwa kuno okukwata ku kugabanyaamu ensi. Yakuwa ayogera ku bantu abeenyigira mu mirimu egitali gimu. Bakabona, “abaweereza mu kifo ekitukuvu,” baalina okuwaayo ssaddaaka era baalina okugenda mu maaso ga Yakuwa okumuweereza. Ate Abaleevi, “abaweereza b’omu yeekaalu,” baalina okukola “emirimu gyamu n’ebintu ebirala ebirina okukolebwamu.” (Ezk. 44:14-16; 45:4, 5) Ate era waaliwo abakozi abaali ab’okukola emirimu okumpi n’ekibuga. Abakozi abo be baani?

14. Abakozi abakolera okumpi n’ekibuga batujjukiza ki?

14 Abakozi abo abakolera emirimu okumpi n’ekibuga bava “mu bika byonna ebya Isirayiri.” Bawagira emirimu egikolebwa mu kibuga. Lwaki tugamba tutyo? Kubanga obuvunaanyizibwa bwabwe bwa ‘kulima mmere y’abo abakola emirimu mu kibuga.’ (Ezk. 48:18, 19) Enteekateeka eyo etujjukiza enkizo gye tulina. Leero abo bonna abali mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo balina enkizo ey’okuwagira emirimu egikolebwa baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta n’egyo egikolebwa ‘ab’ekibiina ekinene’ Yakuwa b’alonze okuweereza ng’abalabirizi mu kibiina. (Kub. 7:9, 10) Engeri esingayo obukulu gye tulagamu nti tubawagira kwe kukolera ku bulagirizi obutuweebwa omuddu omwesigwa.

15, 16. (a) Kintu ki ekirala Ezeekyeri kye yalaba mu kwolesebwa? (b) Mirimu ki gye tukola leero egifaananako egy’abantu abo?

15 Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kulimu n’ekintu ekirala ekirina kye kituyigiriza ku buweereza bwaffe. Kintu ki ekyo? Yakuwa agamba nti abantu okuva mu bika 12, abatali ba mu kika kya Leevi, bandibadde bakolera emirimu mu bifo bya mirundi ebiri: mu luggya lwa yeekaalu ne mu kifo ekirundirwamu. Mirimu ki gye bakola mu bifo ebyo ebibiri? Abantu okuva mu bika byonna bajja mu luggya lwa yeekaalu “okusinza” nga bawaayo ssaddaaka eri Yakuwa. (Ezk. 46:9, 24) Ate abantu okuva mu bika byonna bajja ku ttaka ly’ekibuga okuwagira enteekateeka z’ekibuga nga balimira ku ttaka lyakyo. Abakozi abo tubayigirako ki?

16 Leero, ‘ab’ekibiina ekinene’ beenyigira mu mirimu egifaananako egy’abakozi abaalabibwa mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna. Basinziza Yakuwa “mu yeekaalu ye” nga bawaayo ssaddaaka ez’okutendereza. (Kub. 7:9-15) Ekyo bakikola nga beenyigira mu mulimu gw’okubuulira era nga baatula mu lujjudde okukkiriza kwabwe mu nkuŋŋaana. Okusinza Yakuwa kye bakulembeza mu bulamu bwabwe. (1 Byom. 16:29) Ate era abaweereza ba Katonda bangi bawagira ekibiina kya Katonda mu ngeri endala nnyingi. Ng’ekyokulabirako, bayambako mu kuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka, ofiisi z’amatabi, n’ebizimbe ebirala ebikozesebwa ekibiina kya Yakuwa. Abalala bawagira emirimu ng’egyo nga bawaayo ssente. Mu kukola ebintu ebyo, baba ng’abalimira ku ttaka ly’ekibuga, “olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.” (1 Kol. 10:31) Emirimu gyabwe bagikola n’obunyiikivu era nga basanyufu kubanga bakimanyi nti “ssaddaaka ng’ezo zisanyusa Katonda.” (Beb. 13:16) Weenyigira mu bujjuvu mu mirimu ng’egyo?

Ebyo ebikolebwa mu kibuga n’okwetooloola ekibuga bituyigiriza ki? (Laba akatundu 14-16)

“Tulindirira Eggulu Eriggya n’Ensi Empya”

17. (a) Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kunaatuukirizibwa kutya ku kigero ekisingawo mu biseera eby’omu maaso? (b) Mu Bufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi, baani abanaaganyulwa mu nteekateeka y’obukulembeze efaananako ekibuga?

17 Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku kitundu ekyaweebwayo kunaatuukirizibwa ku kigero ekisingawo mu biseera eby’omu maaso? Yee. Lowooza ku kino: Ezeekyeri yalaba ‘ng’ekitundu’ ekiyitibwa ‘ekitukuvu’ kiri wakati mu nsi. (Ezk. 48:10) Mu ngeri y’emu, oluvannyuma lwa Amagedoni, Yakuwa ajja kuba wamu naffe wonna we tunaabeera ku nsi. (Kub. 21:3) Mu kiseera ky’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka olukumi, enteekateeka ey’obukulembeze efaananako ekibuga, kwe kugamba, abo ku nsi abanaalondebwa okulabirira abantu ba Katonda, ejja kugaziwa ebe ku kigero ky’ensi yonna ng’ewa obulagirizi abo bonna abanaaba mu ‘nsi empya.’​—2 Peet. 3:13.

18. (a) Lwaki tusobola okuba abakakafu nti abo abanaakulembera abantu ba Katonda ku nsi bajja kuba bakolera wansi w’obufuzi bwa Katonda? (b) Erinnya ly’ekibuga litukakasa ki?

18 Lwaki tusobola okuba abakakafu nti abo abanaatwala obukulembeze ku nsi bajja kuba bakolera wansi w’obufuzi bwa Katonda? Okufaananako ekibuga eky’omu ggulu, Yerusaalemi ekiggya, kwe kugamba, 144,000 abanaafugira awamu ne Kristo, n’ekibuga eky’oku nsi nakyo kirina emiryango 12. (Kub. 21:2, 12, 21-27) Ekyo kiraga nti abo abanaaba bakulembera abantu ba Katonda ku nsi bajja kukola ebintu nga basinziira ku binaaba bisaliddwawo Obwakabaka bwa Katonda mu ggulu era bajja kukakasa nti bikolebwa ddala nga Katonda bw’ayagala. Mazima ddala erinnya ly’ekibuga “Yakuwa Ali Omwo” lituleetera okuba abakakafu nti okusinza okulongoofu kujja kubeerawo emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda. Ebiseera eby’omu maaso nga bijja kuba birungi nnyo!