Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 1B

Ebiri mu Kitabo kya Ezeekyeri mu Bufunze

Ebiri mu Kitabo kya Ezeekyeri mu Bufunze

Okutwalira awamu ekitabo kya Ezeekyeri kisengekeddwa bwe kiti:

ESSUULA 1 OKUTUUKA KU 3

Mu mwaka gwa 613 E.E.T., Ezeekyeri bwe yali n’Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse e Babulooni, yafuna okwolesebwa okukwata ku Yakuwa era yalondebwa okuweereza nga nnabbi mu Bayudaaya abaali babeera okumpi n’omugga Kebali.

ESSUULA 4 OKUTUUKA KU 24

Wakati w’omwaka 613 E.E.T. ne 609 E.E.T., Ezeekyeri yayogera obunnabbi, okusingira ddala obwali bukwata ku musango Katonda gwe yali asalidde Yerusaalemi n’abantu baamu abaali basinza ebifaananyi.

ESSUULA 25 OKUTUUKA KU 32

Okutandika n’omwaka gwa 609 E.E.T., nga guno gwe mwaka Abababulooni mwe baatandikira okuzingiza Yerusaalemi omulundi ogwasembayo, Ezeekyeri yatandika okulangirira obubaka obw’omusango eri amawanga agaali geetoolodde Yerusaalemi, omwali Amoni, Edomu, Misiri, Mowaabu, Bufirisuuti, Sidoni, ne Ttuulo.

ESSUULA 33 OKUTUUKA KU 48

Okuva mu mwaka gwa 606 E.E.T., nga Yerusaalemi ne yeekaalu yaamu byamala okuzikirizibwa, Ezeekyeri yatandika okulangirira obubaka obwali buwa essuubi, nga buno bwali bukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu.

Ekitabo kya Ezeekyeri kyasengekebwa okusinziira ku bintu nga bwe byagenda biddiriŋŋana n’okusinziira ku nsonga enkulu ezoogerwako. Obunnabbi obukwata ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi ne yeekaalu yaamu Ezeekyeri bwe yasooka okwogera nga tannayogera ku bunnabbi obulala obungi obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu. Ekyo kikola amakulu, kubanga obunnabbi obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu buba bulaga nti okusinza okwo kwali tekukyaliwo mu yeekaalu.

Ate era obunnabbi bwa Ezeekyeri obukwata ku musango ogwasalirwa amawanga agaali geetoolodde Yerusaalemi (essuula 25 okutuuka ku 32) busangibwa wakati w’obunnabbi obukwata ku musango ogwasalirwa Yerusaalemi n’obwo obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu. Ng’ayogera ku bubaka bwa Ezeekyeri obukwata ku musango ogwasalirwa amawanga, omwekenneenya omu yagamba nti: “Obubaka obwo buli mu kifo kituufu kubanga oluvannyuma lwa Ezeekyeri okulangirira omusango Katonda gwe yasalira abantu be, yalangirira obubaka obukwata ku busaasizi Katonda bwe yali agenda okubalaga, ate ng’okubonerezebwa kw’amawanga ago kye kimu ku ebyo ebyali bizingirwa mu kununulibwa kw’abantu be.”

Genda ku ssuula 1, akatundu 18