Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 10B

Amagumba Amakalu n’Abajulirwa Ababiri—Akakwate Akaliwo

Amagumba Amakalu n’Abajulirwa Ababiri—Akakwate Akaliwo

MU MWAKA gwa 1919 waliwo obunnabbi bwa mirundi ebiri obulina akakwate obwatuukirira: obwo obukwata ku ‘magumba amakalu’ n’obwo obukwata ku ‘bajulirwa ababiri.’ Okwolesebwa okukwata ku ‘magumba amakalu’ kwali kusonga ku kiseera ekiwanvu ennyo (ekyatwala ebyasa bingi) ekyakoma ng’ekibinja kinene eky’abantu ba Katonda kiramuse. (Ezk. 37:2-4; Kub. 11:1-3, 7-13) Obunnabbi obukwata ku ‘Bajulirwa ababiri’ bukwata ku kiseera ekimpi (okuva ku nkomerero ya 1914 okutuuka ku ntandikwa ya 1919) ekyakoma ng’akabinja katono ak’abantu ba Katonda kalamuse. Obunnabbi obwo bwombi bwogera ku kuzuukira okw’akabonero, era bwombi bwatuukirizibwa mu 1919 Yakuwa bwe yasobozesa abaweereza be abaafukibwako amafuta ‘okuyimirira’ ku magulu gaabwe, ne bava mu buwambe mu Babulooni Ekinene era ne bakuŋŋaanyizibwa mu kibiina ekyali kizziddwawo.​—Ezk. 37:10.

Kyokka weetegereze nti okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo obw’emirundi ebiri kulimu enjawulo. Obunnabbi obukwata ku ‘magumba amakalu’ bukwata ku kulamuka kw’ensigalira y’abaafukibwako amafuta bonna. Kyokka obunnabbi obukwata ku ‘bajulirwa ababiri’ bwogera ku kulamuka kw’abamu ku nsigalira y’abaafukibwako amafuta, abo abaali batwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa era abaalondebwa okuba “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.”​—Mat. 24:45; Kub. 11:6. a

‘Olusenyi Lujjudde Amagumba’​—Ezk. 37:1

  1. OLUVANNYUMA LWA 100 E.E.

    Okuva mu kyasa eky’okubiri E.E. n’okweyongerayo ekibiina Ekikristaayo bwe kyattibwa mu ngeri ey’akabonero, ‘olusenyi’ lwajjula “amagumba”

  2. KU NTANDIKWA YA 1919

    1919: ‘Amagumba amakalu’ gaalamuka Yakuwa bwe yasobozesa abaafukibwako amafuta bonna okuva mu Babulooni Ekinene ne bakuŋŋaanyizibwa mu kibiina ekyali kizziddwawo

‘Abajulirwa Ababiri’​—Kub. 11:3

  1. KU NKOMERERO YA 1914

    babuulira nga “bambadde ebibukutu”

    1914: ‘Abajulirwa ababiri’ baabuulira “nga bambadde ebibukutu” okumala emyaka esatu n’ekitundu. Ku nkomerero y’ekiseera ekyo, battibwa mu ngeri ey’akabonero

  2. bafa mu ngeri ey’akabonero

  3. KU NTANDIKWA YA 1919

    1919: ‘Abajulirwa ababiri’ baalamuka ab’oluganda abatonotono abaafukibwako amafuta abaali batwala obukulembeze mu kibiina bwe baalondebwa okuba “omuddu omwesigwa era ow’amagezi”

a Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 2016.