Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 13A

Yeekaalu za Njawulo, eby’Okuyiga bya Njawulo

Yeekaalu za Njawulo, eby’Okuyiga bya Njawulo

Yeekaalu Ezeekyeri Gye Yalaba:

  • Ezeekyeri yategeeza Abayudaaya abaali mu Babulooni kalonda agikwatako

  • Erina ekyoto kwe baweerayo ssaddaaka nnyingi

  • Eraga emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu egikwata ku kusinza okulongoofu

  • Ekwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu okwatandika mu 1919

Yeekaalu ey’Eby’Omwoyo:

  • Pawulo yannyonnyola Abakristaayo Abebbulaniya ebigikwatako

  • Erina ekyoto era ssaddaaka emu yokka y’eweebwayo ku kyo, “omulundi gumu” (Beb. 10:10)

  • Eraga ekyo weema entukuvu ne yeekaalu kye byali bisongako, kwe kugamba, enteekateeka ya Yakuwa ey’okusinza okulongoofu eyeesigamiziddwa ku ssaddaaka ya Kristo

  • Eraga omulimu Kristo gwe yakola nga Kabona Asingira Ddala Obukulu, okuva mu 29 okutuuka mu 33 E.E.