Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 16A

Yerusaalemi Kyali Kikiikirira Kristendomu?

Yerusaalemi Kyali Kikiikirira Kristendomu?

Emabega, ebitabo byaffe byali bigamba nti Yerusaalemi ekyali kyewaggudde kyali kikiikirira Kristendomu. Kyo kituufu nti ebintu ebibi ebyali bikolebwa mu Yerusaalemi eky’edda, gamba ng’okusinza ebifaananyi n’ebikolwa ebirala ebibi, bifaanana n’ebyo ebikolebwa mu Kristendomu. Naye mu myaka egiyise, mu bitabo byaffe, nga mw’otwalidde na kino ky’osoma, tubadde twewala okugamba nti ekintu oba omuntu ayogerwako mu bunnabbi alina ky’akiikirira, okuggyako nga waliwo we tusobola okusinziira mu Bayibuli okugamba bwe tutyo. Waliwo we tuyinza okusinziira mu Byawandiikibwa okugamba nti Yerusaalemi kyali kikiikirira Kristendomu? Nedda.

Lowooza ku kino: Yerusaalemi yaliko entabiro y’okusinza okulongoofu naye oluvannyuma abantu baamu ne bafuuka bakyewaggula. Kyokka yo Kristendomu tesinzangako Katonda mu ngeri ntuufu. Okuviira ddala lwe yatandikawo mu kyasa eky’okuna E.E., Kristendomu ebaddenga eyigiriza ebintu eby’obulimba.

Okugatta ku ekyo, oluvannyuma lwa Yerusaalemi okuzikirizibwa Abababulooni, ekiseera kyatuuka Yakuwa n’akizzaawo era ne kiddamu okusiimibwa mu maaso ge n’okubeera entabiro y’okusinza okulongoofu. Kyokka yo Kristendomu tesiimibwangako mu maaso ga Yakuwa era bw’eneemala okuzikirizibwa mu kibonyoobonyo ekinene tejja kuddamu kubaawo.

Ebyo bye tulabye biraga ki? Bwe twekenneenya obunnabbi obwatuukirizibwa ku Yerusaalemi ekitaali kyesigwa, tusobola okugamba nti, ‘Ekintu kino oba kiri kifaananako n’ekyo kye tulaba mu Kristendomu leero.’ Kyokka tewali we tuyinza kusinziira mu Byawandiikibwa kugamba nti Yerusaalemi kyali kikiikirira Kristendomu.