Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 18A

Yakuwa Alabula Abantu ku Lutalo Olukulu Olugenda Okujja

Yakuwa Alabula Abantu ku Lutalo Olukulu Olugenda Okujja

Bayibuli erimu obunnabbi bungi obulabula abantu ku lutalo lwa Yakuwa olukulu mw’agenda okuzikiririza abo bonna abamuwakanya era abayigganya abantu be. Obumu ku bwo bulagiddwa wammanga. Weetegereze okufaanagana okuliwo mu kulabula Katonda kw’azze awa, era weetegereze nti Yakuwa awadde abantu bonna akakisa okuwulira obubaka obwo babeeko kye bakolawo.

MU KISEERA KYA ISIRAYIRI EY’EDDA

EZEEKYERI: “‘Nditumya ekitala ne [kirwanyisa Googi] ku nsozi zange zonna,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”​—Ezk. 38:18-23.

YEREMIYA: “[Yakuwa] kennyini ajja kusalira abantu bonna omusango. Era ababi ajja kubatta n’ekitala.”​—Yer. 25:31-33.

DANYERI: “Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka . . . Bulibetenta era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna.”​—Dan. 2:44.

MU KYASA EKYASOOKA E.E.

YESU: “Walibaawo ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kasookedde ensi ebaawo.”​—Mat. 24:21, 22.

PAWULO: ‘Yesu ng’ali wamu ne bamalayika be ab’amaanyi aliwoolera eggwanga ku abo abatamanyi Katonda.’​—2 Bas. 1:6-9.

PEETERO: “Olunaku lwa Yakuwa lulijja ng’omubbi, . . . ensi ne byonna ebikolebwamu ne byanikibwa.”​—2 Peet. 3:10.

YOKAANA: “Mu kamwa [ka Yesu] muvaamu ekitala ekiwanvu era ekyogi eky’okutemesa amawanga.”​—Kub. 19:11-18.

MU KISEERA KYAFFE

Bayibuli kye kitabo ekisinze okuvvuunulwa mu nnimi ennyingi era n’okubunyisibwa

ABAWEEREZA BA YAKUWA MU KISEERA KYAFFE . . .

  • Bagabira abantu ebitabo buwumbi na buwumbi ebinnyonnyola Bayibuli mu nnimi nnyingi

  • Buli mwaka bamala essaawa bukadde na bukadde nga babuulira