Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 19A

Emigga Egikiikirira Emikisa Egiva eri Yakuwa

Emigga Egikiikirira Emikisa Egiva eri Yakuwa

Lowooza ku byawandiikibwa ebitali bimu ebikozesa ebigambo “omugga” oba “amazzi” okukiikirira emikisa egiva eri Yakuwa. Bwe twetegereza ebyawandiikibwa ebyo byonna, kituzzaamu amaanyi okulaba engeri Yakuwa gy’atuwaamu emikisa. Mu ngeri ki?

YOWEERI 3:18 Obunnabbi buno bwogera ku nsulo y’amazzi ekulukuta okuva mu yeekaalu. Egenda n’efukirira “Ekiwonvu ky’Emiti gya Sita” ekikalu. N’olwekyo, Yoweeri ne Ezeekyeri bombi balaba omugga oguleeta obulamu mu kifo ekitabaddeemu bulamu. Bombi emigga gye balaba giva mu nnyumba ya Yakuwa oba mu yeekaalu.

ZEKKALIYA 14:8 Nnabbi Zekkaliya alaba “amazzi amalamu” nga gakulukuta okuva mu kibuga Yerusaalemi. Agamu ku go gakulukuta nga gagenda mu nnyanja ey’ebuvanjuba, oba Ennyanja Enfu, ate amalala gagenda mu nnyanja ey’ebugwanjuba, oba Ennyanja Meditereniyani. Yerusaalemi kye kyali ‘ekibuga kya Kabaka omukulu,’ Yakuwa Katonda. (Mat. 5:35) N’olwekyo Zekkaliya okwogera ku kibuga ekyo kituleetera okulowooza ku kiseera eky’omu maaso Yakuwa lw’anaafuga ensi yonna. Tukimanyi nti amazzi agoogerwako mu bunnabbi buno galaga nti waliwo ebibinja by’abantu abeesigwa bya mirundi ebiri Yakuwa by’ajja okuwa emikisa mu nsi empya: abo abanaayita mu kibonyoobonyo ekinene n’abo abanaazuukizibwa.

OKUBIKKULIRWA 22:1, 2 Omutume Yokaana alaba omugga ogw’akabonero ogufaananako ogwo Ezeekyeri gwe yalaba. Naye gwo teguva mu yeekaalu wabula guva mu ntebe ya Yakuwa ey’obwakabaka. N’olwekyo, okufaananako okwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna, okwolesebwa kuno kulaga emikisa abantu gye bajja okufuna mu myaka Olukumi, ng’Obwakabaka bwa Katonda bufuga ensi.

Kya lwatu nti waliwo enjawulo ntono ddala wakati w’emikisa egiva mu bufuzi bwa Yakuwa n’egyo egikiikirirwa omugga Ezeekyeri gwe yalaba mu kwolesebwa. Emikisa egyo gyonna giva eri Yakuwa ne gituuka ku bantu bonna abeesigwa.

ZABBULI 46:4 Weetegereze engeri olunyiriri luno gye lwogera ku bintu ebyo ebibiri, kwe kugamba, okusinza n’obufuzi. Olunyiriri olwo lwogera ku mugga oguleeta essanyu mu “kibuga kya Katonda,” kwe kugamba, Obwakabaka oba obufuzi. Era lwogera ne ku “weema ey’ekitiibwa entukuvu ey’oyo Asingayo Okuba Waggulu,” kwe kugamba, okusinza okulongoofu.

Okutwalira awamu, ebyawandiikibwa ebyo bitukakasa nti Yakuwa ajja kuwa abantu abeesigwa emikisa mu ngeri bbiri. Okusookera ddala tujja kufuna emiganyulo egy’olubeerera okuyitira mu bufuzi bwe. Ate era tujja kufuna emiganyulo egy’olubeerera okuyitira mu nteekateeka ye ey’okusinza okulongoofu. N’olwekyo ka bulijjo tufube okufuna “amazzi agawa obulamu” okuva eri Yakuwa n’Omwana we, tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo!​—Yer. 2:13; Yok. 4:10.