Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 21A

“Ekitundu Kye Munaayawulawo”

“Ekitundu Kye Munaayawulawo”

EZEEKYERI 48:8

Kati ka tugoberere Ezeekyeri nga yeetegereza ekitundu ky’ensi ekyaweebwayo eri Yakuwa. Ekitundu ekyo kirimu ebitundu bitaano. Bitundu ki ebyo? Era biki ebikolebwamu?

A. Ekitundu Ekyaweebwayo

Kitundu abo abakulembera abantu ba Katonda mwe baddukanyiza emirimu gyabwe.

EZK. 48:8

B. “Ekitundu Kyonna”

Kyayawulibwawo okuba ekya bakabona, Abaleevi, n’ekibuga. Ate era abantu bonna okuva mu bika 12 bayingira mu kitundu kino okusinza Yakuwa n’okuwagira emirimu egikolebwa abo abatwala obukulembeze.

EZK. 48:20

C. “Ekitundu ky’Omwami”

“Ettaka eryo lijja kuba lirye mu Isirayiri.” Ekitundu ekyo “kijja kuba kya mwami.”

EZK. 45:7, 8; 48:21, 22

D. “Ekitundu Ekitukuvu”

Ekitundu ekisooka waggulu kya ‘Baleevi.’ “Kintu kitukuvu.” Ekitundu eky’omu makkati ‘kitundu kitukuvu ekya bakabona.’ Omwo mwe muli “ennyumba zaabwe n’ekifo ekitukuvu,” oba yeekaalu.

EZK. 45:1-5; 48:9-14

E. “Ekitundu Ekisigaddewo”

“Kijja kuba kya nnyumba ya Isirayiri yonna” era “kijja kukozesebwa abantu b’omu kibuga. Kijja kuba kya kuzimbamu n’okulundiramu.”

EZK. 45:6; 48:15-19