Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 8

Ebyokulabirako Ebiyigiriza

Ebyokulabirako Ebiyigiriza

Matayo 13:34, 35

MU BUFUNZE: Longoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu ng’okozesa ebyokulabirako ebyangu okutegeera, ebisikiriza, era ebiyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga enkulu.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Kozesa ebyokulabirako ebyangu okutegeera. Kozesa ebintu ebyangu okunnyonnyola ebintu ebizibu okutegeera, nga Yesu bwe yakola. Ekyokulabirako tokikalubya ng’okyongeramu ebintu ebiteetaagisa. Kakasa nti ekyokulabirako ky’okozesa kikwatagana n’ekyo ky’oyogerako, abakuwuliriza baleme kubuzaabuzibwa.

  • Lowooza ku biyinza okuganyula abakuwuliriza. Kozesa ebyokulabirako ebikwata ku bintu abakuwuliriza bye bakola oba bye banyumirwa. Weegendereze oleme kukozesa byakulabirako ebiyinza okubayisa obubi.

  • Essira lisse ku nsonga enkulu. Kozesa ebyokulabirako ebinaakuyamba okuggyayo ensonga enkulu, so si ezo ezitali nkulu. Kakasa nti abakuwuliriza tebakoma ku kujjukira kyakulabirako ky’owadde, wabula n’ensonga lwaki owadde ekyokulabirako ekyo.